TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kamoga atadde ssente mu musomo gwa Ssenga wa Bukedde

Kamoga atadde ssente mu musomo gwa Ssenga wa Bukedde

By Musasi wa Bukedde

Added 26th July 2019

Kamoga atadde ssente mu musomo gwa Ssenga wa Bukedde

Bk2 703x422

Kamoga (ku kkono) ng’akwasa Mbaziira (ku ddyo), Sseguya ne Sseruyange (owookubiri ku kkono) ssente z’omusomo.

OMUSOMO gw’abakulu ogwa Ssenga wa Bukedde gufunye ebbugumu. Muhammadi Kamoga owa Kamoga Property Consultants agutaddemu ssente okutegekebwa abantu basomesebwe bulungi ebirungo bya laavu. Omusomo gw’omulundi guno gutuumiddwa ‘Koona wano’ okukulaga w’olina okugenda ne ky’olina okukola okunyumirwa ensonga z’omukwano.

Kamoga ssente ze yataddemu yazikwasizza akulira abasunsula emboozi za bassereebu n’amasanyu mu Bukedde, Noah Mbaziira ayabadde n’omuwandiisi Josephat Sseguya wamu ne Rashid Sseruyange.

Ssente zino zaakuyambako okukwasaganya omusomo gwa Bukedde ogugenda okubeera ku Freedom City e Namasuba nga August 31 omwaka guno ng’okuyingira kujja kubeera kwa 10,000/- zokka.

Kamoaga yategeezezza nti ye ng’omutunzi w’ettaka kimukwatako okwenyigiramu kubanga omusomo gukwata ku maka ate nga naye atunda ettaka amaka agatebenkedde galina kubeera ku ttaka ng’abaagalana bwe balifuna kibayamba okubeera n’omusingi omugumu ogw’obufumbo.

Omusomo guno ogw’abakulu gujja kubeeramu bassenga abateerya ntama abakulembeddwa Justine Nantume, Hamidah Namatovu ne Edith Mukisa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kuba 220x290

Munnayuganda atuuziddwa nga omusumba...

MUNNAYUGANDA eyalondebwa okufuuka Omusumba w’essaza ly’Eklezia erya Aliwal e South Afrika atuuziddwa mu kitiibwa,...

Br1 220x290

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto...

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto Gama De Olivieira amanyiddwa nga Bebeto eyali emmunyenye ya Brazil

Carol 220x290

Omwawule akoze siteetimenti ekontana...

REV. Isaac Mwesigwa bwe yaggyiddwa e Soroti yatwaliddwa butereevu ku kitebe kya poliisi e Naggulu mu Kampala n’akola...

Jit1 220x290

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka...

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka abagambibwa okukuliramu okwekalakaasa e Kawempe

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...