TOP

Emiggo, omwengen’enjaga byangoba ku musajja

By Musasi wa Bukedde

Added 26th July 2019

Emiggo, omwengen’enjaga byangoba ku musajja

Lab2 703x422

ABAZADDE abasindikiriza abaana baabwe mu bufumbo bayigire kunze.Olunnaku mmange lwe yansindiikiriza mu bufumbo ndifa ndulojja. Nze Event Nayituliki nga nnina emyaka18. Nnafumbiriganwa ne baze nga nnina emyaka 17 wabula abeewabwe w’omusajja nnabalimba nti mpeza emyaka 18.

Kino bakadde bange tebaakikola nga beeyagalidde wabula baanyigirizibwa olw'ebigambo abantu bye baayogeranga nti nze nnadibira ku luggya n'ekigendererwa ky'okubakwanira abasajja baabwe. Mu buwangwa obwaffe, abanywarwanda beewala omwana wabwe okwogerebwako ebigambo ebinene naddala omuwala nti adibidde ku luggya.

Bwe kityo bakadde bange baayanguwa okunnoonyeza omusajja gwe siryerabira obulamu bwange. Embaga yange ey'okwanjula yaliwo nga July 14, 2017 era omusajja yasobola okuleeta ebintu ebitonotono omwali ne ssente enkalu 50,000/- ng'akasiimo k'abazadde.

Wadde saafumbirwa mu kawundo kakubye eddirisa naye nnatuuka ekiseera ne nnejjusa nti ssinga nnamanya nandifumbiddwa omusajja gwe njagala Omwami owange yakeeseza mu ddongo ku lunaku lwe nnasitulirako okugenda ewuwe. Nnalowooza nti osanga kya lunaku lumu wabula yagufuula muze.

Ssaayagala kubuulirako bakadde bange ebizibu bye njolekedde kwe kusalawo mbiyitiremu nnaabakyala w'ekyalo eyatuuza omwami wange ate nemba nga alugulidde ku ppata.

Yandaga nti enjaga n’omwenge abinywa kyere. Bino yagattako n’okunkaliga emiggo awatali nsonga. Yahhambanga nti ku ndongo, omwenge, enjaga n'omusajja nnondeko kimu era n’akomba ku erima nga bwatasobola kubireka lwa mukazi.

Nnasibamu ebyange n’enzira ewaffe n’olubuto lwa myezi esatu nga nsuubira nti omwami wange aneekuba mu kifuba n’akyusa. Ekyammala enviiri ku mutwe ye musajja okutumanga abantu ne bahhamba nti sseeyibaala ne gyendi asobola okunkubirayo.

Bakadde bange bansaba nguminkirize mmuzaalire omwana nti osanga anankima nzireyo ewuwe. Bwe nnamala okuzaala ne nkubira baze essimu nga mmusaba obuyambi n’ansekerera nga annangira nga bwenvuze emmotoka ey'emitto. Mu busungu, nnagenda ku poliisi y'e Lwengo eyannyambako okukwata omusajja n’ansuubiza okumpa obuyambi bwa 28,000/- buli mwezi era poliisi n’emulagira okuzitekanga ewa nnaabakyala.

Kino yakikola omulundi gumu gwokka n'okutuusa kati taddangamu kubumpeereza. Ebyo nnalaba biri bityo ensonga kwe kuzongerayo mu kkooti e Lwengo era omulamuzi n’amulagira okumpanga 40,000/- buli mwezi. Ndi mu kutya kuba nkimanyi omusajja yeekobaana n’abehhanda okunkubira amasimu agantiisatiisa okuntuusaako obulabe ssinga sidda wuwe kyokka obulamu bwange mbwagala.

Nsaba abawala abali mu myaka gyange bayigire ku nze, basalengawo n’amagezi bwe baba batuusizza okufumbirwa kubanga nze omusajja yansiraanya era sisuubira kuddamu kufuna ssanyu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kuba 220x290

Munnayuganda atuuziddwa nga omusumba...

MUNNAYUGANDA eyalondebwa okufuuka Omusumba w’essaza ly’Eklezia erya Aliwal e South Afrika atuuziddwa mu kitiibwa,...

Br1 220x290

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto...

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto Gama De Olivieira amanyiddwa nga Bebeto eyali emmunyenye ya Brazil

Carol 220x290

Omwawule akoze siteetimenti ekontana...

REV. Isaac Mwesigwa bwe yaggyiddwa e Soroti yatwaliddwa butereevu ku kitebe kya poliisi e Naggulu mu Kampala n’akola...

Jit1 220x290

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka...

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka abagambibwa okukuliramu okwekalakaasa e Kawempe

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...