TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti Museveni yeyamye okussa ssente mu SACCO

Pulezidenti Museveni yeyamye okussa ssente mu SACCO

By Benjamin Ssebaggala

Added 26th July 2019

Pulezidenti Museveni yeyamye okussa ssente mu SACCO

Mba1 703x422

Pulezidenti Museveni ng'ayogera eri abantu e Mbarara

PULEZIDENTI Museveni abotodde ekyama nti gavumenti eyongedde ku sente z’eteeka mu  SACCO abantu bazeewole mu bitundu byabwe balwanyise obwavu.

“Tugenda kwongera ku muwendo gwa sente ezigenda mu SACCO kyemulina okukola kutandikawo SACCO mu bitundu byamwe zirabirire sente zino” Museveni bw’aggumizza.

Asinzidde mu kisaawe kya Kacheeka stadium e Mbarara mu Ankole gy’ali mu kiseera kino okusomesa ku  kutondawo emirimu n’okulwanyisa obwavu.

Ekitundu kya Ankole kirimu disitulikiti 12 okuli Buhweju, Bushenyi, Ibanda, Isingiro, Kazo, Kiruhuura, Mbarara, Mitooma, Ntungamo, Rubirizi, Rwampara and Sheema.

Abategeezezza nti agenda kutandikayo enkola nga gy’abadde akola mu Kampala ng’agabira abakozi ebyuma ng’ababazze, aba saluuni n’abalala abakola eby’emikono.

Abakulembeze b’ekitundu kya Ankole baaleese ekiteeso ekyasomeddwa sentebe wa LC5 e Mbarara Rtd. Lt. John Bosco Bamuturaki Tumusiime nti Museveni yeesimbewo mu 2021 nga tavuganyiziddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...

Remagrad2 220x290

Rema alangiridde bw’addayo ku yunivasite...

REMA Namakula alangiridde nga bw’agenda okuddayo ku yunivasite e Kyambogo amalirize diguli ye omwaka guno oluvannyuma...