TOP

Okufuna mu nkoko emmere njetabulira

By Musasi wa Bukedde

Added 29th July 2019

Okufuna mu nkoko emmere njetabulira

Lip2 703x422

Enkoko Rev. Damba alina enkoko z’amagi 5,000 nga zino yaakazirundira omwaka gumu n’ekitundu. Azirundira mu kkeegi ng’agamba nti kino kimuyamba okukuuma obuyonjo n’okwanguyiza mu ndabirira yaazo.

Zino azirondamu ttule z’amagi 100 ng’agamba nti kino kivudde ku mbeera y’obunnyogovu olw’enkuba ebadde etonnya wabula mu kasana alonda 130-140 buli lunaku nga buli ttule agitunda 9,000/- abatwala emu kyokka abatwala ttule 50 n’okudda waggulu abaguza 8,700/-. “Nneetabulira emmere kuba nakizuula nti okugula emmere entabule kibeera kya buseere nga sijja kumalako nakyo.

Wano ngula mukene, caccu, kasooli w’empulunguse, ebitungotungo n’ekirungo olwo n’empa enkoko zange”, bw’annyonnyola. Mu kiseera kino alina kkeegi 45 ng’agamba nti zirimu emitendera okusinziira ku bungi bw’enkoko kkeegi eyo z’etwala nga ziva ku nkoko 90 okutuuka ku 120. “Zino zigula wakati w’akakadde kamu n’emitwalo 20 okutuuka ku kakadde kamu n’ekitundu”.

Enkwata ya Kasasiro “Bwe natandika okulunda enkoko nafuna okusoomoozebwa kw’okukwataganya kalimbwe era baliraanwa bange emirundi mingi baakaluubirizibwanga. Wano nalina okulowooza ku ngeri gye nsobola okukwataganyamu kalimbwe okukuuma obutebenkevu n’emirembe mu kitundu.

Agamba nti yazimba ‘bio gas’ ng’egendamu liita z’amazzi 30,000 era ng’efulumya gaasi mungi d nga nsobola n’okugabirako abalala nga kati alina kenereeta esobola okumukyusa n’okufuna amasannyalaze naye nga okufumba gw’akozesa. Okuganyula ekitundu Annyonnyola nti, abantu ku kitundu mbawa kalimbwe w’okussa mu nnimiro zaabwe engeri gye tuli mu kibuga balimira wafunda.

Buli ayagala ajja wano ne muwa kalimwe wa bwereere. Mu ngeri y’emu buli lw’embaako ekipya kye ndeese gamba ekika ky’obumyu ekirala mbayita ne mbalaga nga wano njagala okubaagazisa okulunda n’okulima wadde nga tuli mu kibuga naye njagala bakimanye nti basobola okubaako bye bakola.

Okweyongerako amagezi Nazaalibwa mu famire ya balimi wabula nga tulima mmere ya kulya waka. Nnina obwagazi bw’enjawulo mu kulima n’okulunda ate nga ne mu ssomero twabisomako naddala bwe nali mu S4 nasomako obulimi n’obulunzi era mu kiseera kino ngezaako okubijjukira.

Nettanira emisomo egy’enjulo egitegekebwa mu bitongole n’ebibiina by’abalimi kwossa omusomo gwa Harvest Money ogwa Vision Group ate nga sigwa katabo ka Enkumbi terimba n’aka Harvest Money obunnyambye okwongera okubanguka. Famire Famire yange mweri mu bintu bino wabula abaana baakula nga buli omu alina bizinensi ze kyokka singa mbaako kye njayagala beenyigiramu.

Okugeza ssinga mbeera ngenda kugula akatimba oba emmere mbakubira ssimu ne basobola okukangulira ne baweereza. Enteekateeka z’omu maaso Ekirooto kyange kya kulaba abantu abalunzi b’obumyu nga beyongedde okwetooloola eggwanga ate nga ndi mulunzi ow’amaanyi era awa abalunzi abalala amagezi ku kulunda obumyu.

Njagala okugula ekyuma ekikola sosegi n’ebirala okuva mu bumyu era nga namaze okubuuza ku byuuma bino nga nagambiddwa nti ekikola sosegi kya bukadde busatu n’ekitundu ate ekikola emmere ennyogoza kya bukadde obusoba mu mukaaga.

Njagala okulaba nga twekozeemu ekibiina ng’abalunzi b’obumyu okusobola okuwa bakasitoma kuba bangi ababwagala kyokka tetunnaba kutuuka kubamatiza kuba n’abalala ababulina balina 200 nga ne bwe tutandika tebusobola kumalawo wadde omwaka nga tebunnagwawo.

Okusomoozebwa Nina okusomoozebwa kw’okuweza omwendo gw’obumyu abaguzi bwe betaaga kuba mungi okusinga gwe nsobola okubawa. Ebyuuma by’okugattako omutindo nabyo bya buseere kuba njagala okutandika okugattako omutindo wabula ebyuuma biseerebwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...