TOP

Abadiventi basabidde Kabaka

By Lawrence Kitatta

Added 29th July 2019

Abadiventi basabidde Kabaka

Nab2 703x422

ABADIVENTi mu ggwanga lyonna baasabidde Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okuweza emyaka 26 ng’ali ku Nnamulondo alamula.

Okusaba kwakukulembeddwa Omusumba Jeremiah Alisengawa ku kkanisa e Kireka ne beebaza Kabaka olw’okulamula Buganda obulungi ate n’okugatta Buganda ku bitundu by’eggwanga ebirala.

N’omutima ogwaniriza buli muntu era alaze ekifaananyi ekirungi mu bukulembeze bwe.Omusumba Alisengawa yagambye nti Kabaka abadde mukulembeze mulungi kubanga akulembedde Buganda  ng’erina enkulaakulana era yeekutte omumuli bw’ogeraageranya ku bitundu by’eggwanga ebirala ekiraga nti abadde mukulembeze akulaakulanya abantu be.

Yagambye nti Buganda n’Abaganda balina omutima ogutasangika ogwaniriza buli muntu nga  kino kye yolekera ku bantu ab’amawanga amalala abali mu Buganda ate nga batebenkedde ntende awatali abasumbuwa era kino kibadde kimu ku bireese enkulaakulana mu Bwakabaka bwe bw’akulembedde okumala emyaka 26.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...