TOP

Eyabadde atunda essimu enzibe gamumyuse

By Musasi wa Bukedde

Added 29th July 2019

Omuvubuka agenze okusala enviiri mu saluuni n'abbayo essimu gamyumyuse bwe bamukutte ng'agitunda

Ssimuwebuse 703x422

Ssebulime ng'alaga essimu gye yabadde abbye mu saluuni

Bya Madinah Sebyala

Bernard Ssebulime yagenze kumusala nviiri wabula tekyamumalidde n'abbayo essimu.

Ssebulime okukwatibwa yabadde atunda essimu enzibe ng’eyabadde agimugulako bwe yamubuuzizza ebigikwatako nga talina biwandiiko kwe kumwekengera.

Umar Ssebuyungo, ng’ayambako eggye ezzibizi erya UPDF mu bikwekweto by’ababbi mu disitulikiti y'e Mukono ye yakutte Ssebulime oluvannyuma lw’okutemezebwako gwe yabadde ayagala okuguza essimu eno.

Yayongeddeko nti, omubbi Ssebulime yamutegeezezza nga essimu bwe yamuweebwa omuyizi wa UCU agimutundire naye bwe yamufuuzizza n'amussa mu mmotoka okumutwala ku poliisi n'ayogera amazima nga bwe yabadde agibbye mu saluuni gye yagenze okumusala enviiri.

Yabatutte mu saluuni ne bazuula nga baabadde bagibbye era n'aggulwako omusango gw'obubbi ku poliisi y'e Mukono ku Ref: 100/25/07/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...