TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusuubuzi w'omu Kikuubo asibye omukozi we ng'amulanga okubulankanya obukadde 500

Omusuubuzi w'omu Kikuubo asibye omukozi we ng'amulanga okubulankanya obukadde 500

By Eria Luyimbazi

Added 30th July 2019

Omusuubuzi asibye omukozi we ng'amulanga kubulankanya mmaali n'ensimbi ezibalirirwa mu bukadde 500.

Bomboka2 703x422

Bomboka ng'ali ku CPS

OMUSUUBUZI w’omu Kikuubo atutte omukozi we ku poliisi n’emuggalira

ng’amulanga okubulankanya ssente  n’emmaali ebalirirwamu obukadde 500.

Lydia Ndagire nnannyini dduuka lya Leadco & Sons  erisangibwa ku kizimbe kya Arrow Complex mu Kikuubo ye yatutte omukozi we, Pius Bomboka ku poliisi ya CPS mu Kampala ng’amulanga okubulankanya emmaali ebadde mu dduuka yonna n’alemwa okumunnyonnyola ekyatuukawo.

Ndagire yagambye nti abadde akozesa Bomboka okumala emyaka 8 wabula n’atandika okumwekengera  ng’ alaba ssente ezitundibwa mu bintu eby’enjawulo by’aleeta okuva e China tezikyawera era yasooka kulaba ng’ emmaali ya bukadde 25 terabikako.

“Omwana ankoze bubi, edduuka lyonna alisudde ate tambulira ssente gy’abadde aziteeka kati ansudde mu mabanja alinga ayagala okuziza mu kyalo,” Ndagire bwe yategeezezza.

Yagambye nti yalekera Bomboka edduuka n’agenda okuzaala n’emmaali ebalirirwamu obukadde 500.

Yategeezezza nti ekyasinze okumukuba encukwe kwe kukomawo ng'edduuka teririimu kantu konna okuggyako obucupa omuli omusulo ate nga ne nnannyini kizimbe amutegeeza nga bwamubanja ssente z’obupangisa ate nga n’abalala abamubanja teyabasula kwe kusalawo okugenda ku poliisi n’amuggulako omusango oguli ku fayiro nnamba SD 10/10/07/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte