TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayizi n’abasomesa okwekuniza kubeeraliikiriza

Abayizi n’abasomesa okwekuniza kubeeraliikiriza

By Musasi wa Bukedde

Added 30th July 2019

Abayizi n’abasomesa ku ssomero lya Ggingo Primary School erisangibwa ku kyalo mijuna mu ggombolola y’e Bigasa mu disitulikiti y’e Bukomansimbi bali mu katubagiro olw’obutaba na kaabuyonjo.

Janenandawulaakkuliraesomerolyaggingo 703x422

Jane Nandawula omukulu w'essomero

Abayizi n’abasomesa ku ssomero lya Ggingo Primary School erisangibwa ku kyalo mijuna mu ggombolola y’e Bigasa mu disitulikiti y’e Bukomansimbi bali mu katubagiro olw’obutaba na kaabuyonjo.
 
Kino kiddiridde  kaabuyonjo gye balina okugwaamu gye guvuddeko ne basigala nga tebalina we beetewuliriza.
 
Akulira essomero, Jane Nandawula ategeezeza nga bwe wayise ebbanga nga ensonga eno agitegeezezza ku bakulira ebyenjigiriza n’abakulembeze ba disitulikiti wabula nga tebafuna kuyambibwa kwonna.
 
Agamba nti kino kireetedde abayizi n’abasomesa oluusi okukozesa ey’ekkanisa eriraanye essomero wabula ng’oluusi bagisiba ne babonaabona.
 
Ssentebe wa disitulikiti, Muhammad Kateregga ategeezezza nga ensonga eno bwe bagimanyiiko n’agamba nti disitulikiti  ekyali mu kunoonya ssente okulaba nga ensonga egonjoolwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agende 220x290

Kkooti egobye egimu ku misango...

KKOOTI y’e Nakawa egobye omusango gw’obuyeekera ogwali gwaggulwa ku basajja 14 abagam- bibwa nti beenyigira mu...

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.