TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okuggulawo PASS PLE Club ku Cardinal Nsubuga Mmemoorial Primary School

Okuggulawo PASS PLE Club ku Cardinal Nsubuga Mmemoorial Primary School

By Vivien Nakitende

Added 30th July 2019

Bukedde ayongedde okulaba ng’abayizi baganyulwa mu katabo ka PASS PLE akafulumira mu mawulire buli Mmande, akubiriza amasomero okuggulawo Pass PLE Clubs.

Cardinal9 703x422

Pauline Mukwaya, akulira essomero lya Cardinal Nsubuga Memorial P/S Ndeeba

 
 
 
 
Bukedde ayongedde okulaba ng’abayizi baganyulwa mu katabo ka PASS PLE akafulumira mu mawulire buli Mmande, akubiriza amasomero okuggulawo Pass PLE Clubs.
Wiiki ewedde Bukedde yagguddewo kiraabu ya PASS PLE ku ssomero lya Cardinal Nsubuga Memorial PS mu Ndeeba  ne Kabowa C/U Primary School.
 bayizi ba ardinal subuga emorial rimary chool Abayizi ba Cardinal Nsubuga Memorial Primary School

 

                     
Abayizi abali mu kiraabu eno bakozesa akatabo kaffe ne bakubaganya ebirowoozo ku bibuuzo mu masomo okuli Okubala, Olungereza, Ssaayansi ne SST. 
Omusomesa abeerawo okulaba engeri gye baddamu ebibuuzo ebyo era n’ayongera okubawabula we baba basobezza.
Enkola eyokukubaganya ebirowoozo eyambye abayizi okuyigira ku bannaabwe.
Bayize okuvuganya obulungi era kiyamba n’abalala okunyiikira  okukkakkana nga bakoze bulungi mu kibiina.
 
Bayiga okukolera awamu kubanga bavuganyiza mu bibinja eby’enjawulo.
Abayizi kyangu okulaba we balina obunafu ne bongera okwetegerezaawo kubanga ebibuuzo mu katabo ka PASS PLE biva mu bisomesebwa mu bibiina byonna okuva wansi.
Ssinga oba ne kiraabu eno tukusaAba otutegeezeeko olw’olumu tujja kubakyalira. 
 

Pauline Mukwaya, akulira essomero lya Cardinal Nubuga Memorial P/S school agambye nti, Akatabo ka pass PLE kabayambye okugezesa obusobozi bw'abayizi baabwe ne bayiga obuyiiya mu byebakola ekibayambye okukyusa ennyo engeri gye baddamu ebibuuzo.

Twagala amasomero amalala agalina kiaabu eno okututegeeza tubakyalireko oyonza okukuba essimu nnamba 0703-678826

 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Han1 220x290

Omulabirizi Mutebi bamujjanjabye...

Omulabirizi Mutebi bamujjanjabye ne bamussaako obukwakkulizo

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa