TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enkaayana ku kizimbe kya Nakivubo Blue zisajjuse

Enkaayana ku kizimbe kya Nakivubo Blue zisajjuse

By Hannington Nkalubo

Added 31st July 2019

ENKAAYANA z’ebizimbe ku ssomero lya Nakivubo Blue zisajjuse kkooti bweragidde enjuyi zombi ezikaayana ziddemu zeetegereze oba ebizimbe tebiri ku ttaka lya ssomero.

Nakivubo 703x422

Ekizimbe ekivuddeko obuzibu

BYA HANNINGTON NKALUBO
 
 
ENKAAYANA z’ebizimbe ku ssomero lya Nakivubo Blue zisajjuse kkooti bweragidde enjuyi zombi ezikaayana ziddemu zeetegereze oba ebizimbe tebiri ku ttaka lya ssomero.
Wiiki ewedde abakulembeze ku lukiiko olufuga essomero baatudde n’omugagga, Festo Kasajja owa Kasajja and Sons Emporium ne baalambula ebizimbe nga kkooti bwe yalagidde wakati mu kukaayana nga buli ludda lugamba nti lwe lutuufu.
 
 munnamateeka wessomero munnamateeka w'essomero

 

Buli ludda lwabadde ne balooya baalwo obwedda abongera okunyweza nti buli omu kwawolereza ye mutuufu.  Bammemba ku lukiiko olufuga essomero okwabadde, Godfrey Kasiita, Peter Olengejje, ssentebe Habib Rwamagana n’abalala baalaze Mw. Festo Kasajja nti ebizimbe biri ku ttaka lya ssomero.
Kasajja yabaggyiddeyo ekitabo ekirimu kalonda w’ebiwandiiko naasikamu lipooti y’abakugu okuva mu lukiiko olufuga ettaka olwa Uganda Land Commission [ULC]  olulaga nti ebizimbe tebiri ku ttaka lya ssomero.
Yaggyeeyo ebbaluwa eyawandiikibwa eyali munnamateeka wa KCCA Mike Okua nga October 23 2014 eyali yeesammula nti ekizimbe ekyo KCCA tekimanyi era sikyaayo. Ebbaluwa yamulagira okukisasulira busuulu era taddamu okubasibako ekizimbe ekyo nti kyabwe aba KCCA.
Yabalaze ebbaluwa eraga nti yali yasaba dda ettaka eryo era mu lipooti eyafulumiziddwa mu January 17  2017 okuva mu Uganda Land Commission [ULC], yalagira aweebwe liizi n’ekyapa okusobola okukuuma enkulaakulana gy'ataddewo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga