TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekyabadde ku matikkira ga Kabaka: Obubaka bwa Kabaka mu bujjuvu

Ekyabadde ku matikkira ga Kabaka: Obubaka bwa Kabaka mu bujjuvu

By Dickson Kulumba

Added 1st August 2019

Kabaka Ronald Mutebi II ng’ayogera mu kukuza Amatikkira ge ag’omulundi ogwa 26, yasoose kwaniriza bagenyi bonna naddala Sultan owa Sokoto: Nnina essanyu lingi nnyo okwaniriza omugenyi waffe omukulu Sultan ow’e Sokoto. (Yawadde ebyafaayo bya Sokoto n’ategeeza nti ye mukulembeze omukulu ennyo era akulembera Abasiraamu obukadde 10 mu Nigeria).

Kulumba1 703x422

Tukwanirizza nnyo Sultan. Omulamwa gwe tugenda okutambulirako omwaka guno kwe kwegatta mu byenfuna, twegasse tutya era tunaakola tutya okulwanyisa obwavu?

Ebibiina by’obwegassi mu Uganda byatandikira wano mu Buganda, byatandikira mu ssaza ly’e Ssingo mu 1913.

Abaganda baali bakimanyi bulungi nti agali awamu ge galuma ennyama era baakimanya nti bwe twegatta twali tusobola bulungi okusuubula ebirime bye tulimye ng’emmwaanyi ne ppamba.

Kyatwala emyaka 33 ng’abafuzi b’amatwale tebannatongoza bibiina bya bwegassi kubanga abagwira baali tebasobola kuvuganya na bannannyinimu.

Abagwira obugagga baabuggya mu ppamba n’emmwaanyi ne bafuna amagoba mangi nnyo.

Gavumenti yasobola okubeerawo okweyimirizaawo ku nsimbi ezaavanga mu ppamba n’emmwaanyi.

Mu mwaka 1946 ng’ekibiina ekikkiririza mu bibiina by’abeegassi ekya Labour Government kiyingidde mu buyinza e Bungereza, kyakkiriza okutongoza ebibiina by’abeegassi mu Buganda n’awalala wonna. Era tetusaanye kwerabira abasajja abakwata engabo nga Wamala ne Musaazi abaakola obutaweera okukunga abantu e Bule ne Bweya okukunga bantu okwegatta.

Ebibiina by’obwegassi bannannyinibyo be bantu so ssi Gavumenti, bikulemberwa abantu abalondebwa abeegassi sso ssi Gavumenti era tebifuna nsako okuva mu Gavumenti.

Wano mu Buganda twalina ebibiina nga Bwavumpologoma e Buddu.

Wamala e Ssingo, West Mengo ne East Mengo. Ebibiina bino byakozesanga abantu bangi nnyo era mu 1964 byatandikawo ne bbanka Cooperative Bank weewaawo entalo ezaali mu Uganda zaakosa nnyo ebibiina bino era ne bifiirwa ebintu bingi.

Ebibiina ebyaliwo era nga bya maanyi twagala biddewo. Eno ye yali ensibuko y’obugagga wano mu Uganda era nga biyamba nnyo bannansi okubeera n’omukono ogwamaanyi mu byenfuna.

Abantu bakaabye nnyo obwavu, bakaabye nnyo ebbula ly’emirimu. Okuzzaawo ebibiina by’obwegassi lye kkubo erisinga erinaatuyamba okwenyigira mu byenfuna.

Noolwekyo tukubira abantu baffe omulanga buli omu waali okwongera okusimba emmwaanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.

Funa 220x290

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu...

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera...

Tuula 220x290

Mukwano gwange yansigulak

NZE Hakim Male nga mbeera Kireka Railway mu munisipaali y’e Kira. Siryerabira mukwano gwange gwe nali mpita owange...

Funayo1 220x290

Omuyizi alumirizza omusajja okumuwamba...

POLIISI y’e Matugga ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okutaayizza omuyizi abadde agenda ku ssomero n’amuwamba...

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...