TOP

Omusuubuzi bamuttidde mu takisi

By Herbert Musoke

Added 1st August 2019

OMUSUUBUZI mu Lufula yalinnye takisi eyabadde eva e Kampala ng’edda Mukono. Musajja wattu teyategedde nti takisi alinnya ya batemu! Aba famire ye kye bazzeemu okuwulira ge masimu agabayita mu ggwanika e Mulago bakakase oba omulambo oguliyo gwa muntu waabwe oyo.

Tema 703x422

Ab’omu Lufuia nga bakuba eriiso evvannyuma ku mulambo gwa Zirayo. Mu katono bw’abadde afaanana.

Bya HERBERT MUSOKE NE HENRY KASOMOKO

Baaguddewo ekigwo okutuuka ku ggwanika ng’omulambo ddala gwa muntu waabwe – Ssaalongo Patrick Zirayo ow’emyaka 32.

Obubonero obuli ku mulambo ne lipoota y’abasawo byakakasizza nti Ssaalongo baatuze mutuge era kiteeberezebwa nti abatemu baamutugidde mu takisi gye baasembye okumulaba ng’alinnya ku siteegi ya UMI okuliraana poliisi ya Jinja Road.

Ssaalongo abadde yaakazaala abalongo emirundi ebiri era baamulesezza abaana abato ennyo; ng’omwana we omukulu asoma P2 ate abalongo abamuddako bali mu Middle (Nursery School) ate abalongo abasembayo bakyayonka.

Bonna baasigadde mu bbanga kubanga ssente ezibabeezaawo, Ssaalongo y’abadde azikola.

Bwe baamaze okumutta, omulambo baagusudde Ssonde nga waakava e Namugongo era emmotoka we yakyukidde n’ekwata erikomawo e Kampala!

BAMUSSE MISANA TTUKU

Ku Lwokubiri ku ssaawa 4:00 ez’oku makya, Ssaalongo yabadde amalirizza emirimu gye egy’obusuubuzi bw’ente gy’abadde amaze emyaka 13 ng’agikolera mu Lufula y’oku luguudo Old Port Bell (oludda e Luzira).

Yasazeewo okugendako ku mupiira gw’abakola mu Lufula ogutera okubeerawo ku ssaawa nga 5:00 ez’oku makya nga baakamaliriza emirimu.

Omupiira gwawedde ku ssaawa nga 7:00 ez’emisana kyokka nga ttiimu gy’awagira bagikubye ggoolo 2 ku bwereere era omupiira olwawedde n’agamba banne nti omwaka ogujja ayagala ttiimu bagimukwase agituuse ku buwanguzi.

Ku mupiira ogwo yabaddeko n’abamu ku baganda be b’abadde akola nabo mu Lufula okuli Henry Kabugo ne Jafaly Lubambo.

Kabugo yagambye nti omupiira olwawedde, Ssaalongo n’abasiibula ng’abategeezezza nti addayo waka Mukono kubanga abamuzimbira ennyumba ye empya gy’abadde anaatera okumaliriza e Mukono ku Bbiri (ku lidda e Bugerere) nti baabadde bamukubira amasimu nga balina bye beetaaga abagulire.

Yabanjizza ssente mu bafumbi b’emmere n’abantu abalala be yabadde aguzizza ennyama era bwe yamaze okuzikung’aanya, n’asiibula banne ng’abategeezezza nti baakuddamu okulabagana enkeera.

“Ffenna yatusiibudde ate bwe yatuuse ku muto waffe Lubambo, n’amugwa mu kifuba emirundi esatu nga bw’amugamba nti ‘Nze ngenze….nze ngenze… nze ngenze!

Tetwategedde nti yabadde atusiibulira ddala kutuva ku maaso” Kabugo bwe yategeezezza Bukedde eggulo.

Waliwo abaasoose okutegeeza abooluganda nti Ssaalongo yasoose kulinnya bodaboda, wabula oluvannyuma abaamulabye ne bategeeza nti olwafulumye Lufula n’ayita mu kakubo akakozesebwa abeebigere akayita okumpi n’ekizimbe okuli Toyota n’atuuka ku Jinja Road nti era n’asala oluguudo okulinda takisi ezimuzza e Mukono gy’abadde abeera.

Baasembye okumulaba ng’alinnye takisi gye yayimirizza ng’eva ludda lw’e Kampala era kiteeberezebwa nti yabaddemu babbi, wabula ye teyakitegedde.

Kabugo yategeezezza nti Ssaalongo we yaviiridde mu Lufula yabadde n’ensimbi eziri wakati w’akakadde akamu n’obukadde obubiri.

Kiteeberezebwa nti abatemu abaabadde mu takisi ze ssente ze baabadde baluubirira okunyaga era ekyaddiridde kutta nnyinizo ne bazitwala.

Baatwaliddeko amasimu omugenzi ge yabadde nago era ekisinga okwewuunyisa kwe kuba nga bino byonna baabikoze misana ttuku.

Joel Eseri mukulu w’omugenzi yagambye nti omulambo baagusanze guli mu ngoye bulungi era nga zitukula bulungi.

Engatto nazo zaabadde mu bigere nga tewali kabonero kalaga nsiitaano era nga kiraga nti n’ekifo we baamuttidde kyabadde kiyonjo era bwe baamaze kwe kutwala omulambo e Ssonde ne bayingirako mu kkubo ery’ettaka eritatera kuyisa bantu ne bagusuula okumpi n’amaka agamu era ne bawetera awo emmotoka ne bavuga nga badda ku lw’e Kampala.

Kiteeberezebwa nti omulambo baagusuddewo mu ssaawa nga 9:00 ez’olweggulo era oluvannyuma lw’akaseera akatono, abatuuze baagulabye ne bayita poliisi n’eguggyawo n’egutwala e Mulago.

Omwogezi wa poliisi mu Uganda, Patrick Onyango agamba nti poliisi we yatuukidde mu kitundu ng’omulambo gusuuliddwa okuliraana amaka g’omutuuze era nga gusibiddwa enkoba ku mikono n’amagulu.

Yagambye nti okunoonyereza kutandise era nga bagguddewo fayiro SD REF: 7/30/07/2019 ey’obutemu ku bantu abatannamanyika era abanoonyezebwa kati. Takisi eyogerwako nayo tennamanyika era baginoonyerezaako.

Yagasseeko nti beekenneenyezza emipiira gy’emmotoka eyakyukiddewo ekikakasa nti omulambo baatutteyo mutwale.

Enkoba ezaabadde zisibiddwa ku mulambo, poliisi ye yazisumuluddeko ng’egutwala mu ggwanika.

Florence Nalubwama maama w’omugenzi yagambye nti amawulire g’okufa kwa mutabani we gaamusenze ali ku ggwanika e Mulago gye yabadde agenze okulaba omulambo gwa mukwano gwe eyatomeddwa mmotoka ku City Square mu Kampala n’afi irawo.

Wakati mu maziga, maama yagambye nti: Omwana wange tabadde na ntalo, nga ne bw’okinyiiza kisajja kyattu kisirika busirisi ne kikuviira! Baakiranze ki, abatemu bano?

Omulambo gwa Ssaalongo bwe baaguggye e Mulago, gwasoose kutwalibwa mu Lufula basuubuzi banne okugukubako eriiso evvannyuma era Abbey Mugumba, Ssentebe w’ekibiina ekigatta abakinjaagi mu Lufula eno ekya CATIDA, awo we yasinzidde okutegeeza nti Ssaalongo Zirayo abadde musuubuzi ow’empisa atalina mutawaana ku muntu yenna era abadde mukwano gwa bangi.

“Abadde omu ku bavubuka ab’ekiwago mu Lufula eno kyokka ebbanga ly’amaze ng’akolera mu kifo kino, tetufunanga muntu yenna amulinako buzibu bwonna oba okumuwaabira nti amukozeeko effujjo,” Mugumba bwe yagambye n’akubira gavumenti omulanga okunyweza ebyokwerinda, abantu baleme kuttibwa batyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte