TOP

Kadaga awabudde Abawarabu ku kufeebya abakazi

By Muwanga Kakooza

Added 1st August 2019

SIPIIKA Rebecca Kadaga asabye amawanga g’Abawarabu okwongera ku bungi bw’abakyala abali mu bifo by’obukulembeze n’agamba nti mangi galina abakazi batono nnyo mu bifo eby’omuzinzi mu gavumenti.

Paki20jpg5784 703x422

Ababaka ba palamenti ya Parkistan abakazi nga bakwasa Kadaga ekirabo.

Kadaga era agambye nti okusomoozebwa Afrika kw’erina kuliko okulwanyisa obwavu,okutumbula eby’obulamu,okubunyisa amasanyalaze,ebyenjigiriza n’okutereeza embeera z’ebyobulamu.

Bino yabyogeredde mu kibuga Islamabad e Parkisitan ng’ayogera eri olukung’ana lwa  palamenti z’amwanga agali mu  luse olumu ne Bungereza,okusinziira ku mawulire agaafulumiziddwa palamenti.

Yagambye nti mu mawanga ga Buwarabu, ensi Nepal y’esinga okuba n’abakazi abangi mu bifo by’obukulembze nga bali 33 ku 100 ng’ate Siri Lanka y’ekoobedde n’abakazi mukaaga bokka buli kikumi.

Kyokka n’agamba nti mu Latin Amerika ne Afrika omuwendo gw’abakazi abali mu bifo by’obukulembeze gugenze gweyongera.Yagambye nti e Bolivia n’e Cuba abakazi abali mu bifo by’obukulembeze bali 52 buli kikumi ate mu Afrika Rwanda y’esinza abangi nga bali 61 buli kikumi.

Pulezidenti wa Parkisitan  Dr. Arif Alvi yagambye nti obutali bwenkanya mu nsonga nnyingi bweyongera buli  kadde mu nsi yonna. N’agamba nti buvunaanyizibwa bwa gavumenti okulwanyisa kino.

Kwe kuwa eky’okulabirako nti gavumenti esasuza abaggagga emisolo n’eyamba abaavu okufuna obuwereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira