TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti Museveni asabye ab'e Kabale okukyusa ennima

Pulezidenti Museveni asabye ab'e Kabale okukyusa ennima

By Ali Wasswa

Added 1st August 2019

Yagambye nti, mu kifo ky’okulima omuwemba ogukula mu myezi musanvu, ekibalo ekituufu kiba singa omuntu alima obummonde obuzungu obukulira mu myezi esatu, afuna sizoni bbiri n’afuna amagoba mangi okusinga alimye omuwemba. Museveni yawerekeddwaako Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakan Rugunda, minisita omubeezi ow’ebyensimbi David Bahati, ne Minisita omubeezi ow’ebyamayumba Chris Baryomunsi. Yagambye nti, si kibi okwagala obuwangwa naye engeri eggwanga gye liri mu kulwana okutereeza ebyenfuna, abantu balina okukozesa ettaka lyabwe okulima ebintu ebivaamu ssente.

Museveniinkabalewebsite 703x422

Museveni ng'atongoza olumu ku luguudo olwakoleddwa e Kabale.

PULEZIDENTI Museveni atongozza enguudo mu kibuga ky’e Kabale n’aggulawo ne ofiisi y’ettaka n’akubiriza abantu baayo okukyusa ennima bave ku birime ebirwawo okukula, balime ebyo ebikula amangu ng’obummonde obuzungu.

 

Ekibuga ky’e Kabale kyaweereddwa obuwumbi 13 n’obukadde 500 okuva mu Gavumenti ne World Bank ziyambeko mu kukola enguudo eziweza obuwanvu bwa kkiromita ssatu (3) okuli Kigongi, Nyerere, Nyerere Avenue, Bank Lane, Keira ne Nkunda mu nteekateeka emanyiddwa nga Urban Support to Municipal Infrastructure Development Project (USMID).

Museveni era yakwasizza n’abantu ebyapa by’ettaka lyabwe n’abakubiriza okukola ennyo basobole okweggya mu bwavu.

Yabagambye nti engeri ettaka gye ligenda nga lifunda, kyamakulu okulima ebintu ebivaamu ssente okusinga okulima ebyokulya.

Yagambye nti, mu kifo ky’okulima omuwemba ogukula mu myezi musanvu, ekibalo ekituufu kiba singa omuntu alima obummonde obuzungu obukulira mu myezi esatu, afuna sizoni bbiri n’afuna amagoba mangi okusinga alimye omuwemba. Museveni yawerekeddwaako Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakan Rugunda, minisita omubeezi ow’ebyensimbi David Bahati, ne Minisita omubeezi ow’ebyamayumba Chris Baryomunsi. Yagambye nti, si kibi okwagala obuwangwa naye engeri eggwanga gye liri mu kulwana okutereeza ebyenfuna, abantu balina okukozesa ettaka lyabwe okulima ebintu ebivaamu ssente.

Omu ku batuuze b’e Kabaale yagambye Museveni nti, yiika emu ey’obummonde, agiggyamu obukadde buna buli lulima era ono Museveni yamusanyukidde nnyo n’asaba abalala okumulabirako. Museveni bwe yabadde aggulawo ofiisi y’ettaka yagambye nti, abantu babadde babonaabona okufuna ebyapa nga balina kugenda Ntebe kyokka okuva lwe bagguddewo ofiisi e Kabale, abantu bagenda kwanguyirwa.

Abantu abasoba mu 7,000 be bagenda okuweebwa ebyapa mu ttunduttundu lya Kigezi nga ku bano 5,980 bagenda kuweebwa byapa bya bwannannyini obwenkomeredde ate 1,865 ebyabwe bya ttaka ery’ensikirano. Museveni yasoose kusisinkana bakulembeze ku mitendera egy’enjawulo omwabadde ne bassentebe ba NRM n’abatuma baddeyo basomese abantu engeri y’okweggya mu bwavu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...