TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Dr. Stella Nyanzi bamusingisizza ogw'okukozesa obubi kompyuta n'ayomba: Bamusalira leero ekibonerezo

Dr. Stella Nyanzi bamusingisizza ogw'okukozesa obubi kompyuta n'ayomba: Bamusalira leero ekibonerezo

By Alice Namutebi

Added 1st August 2019

Nyanzi atabukidde mu kkooti n'agamba nti; 'kye nnali nduubirira nkifunye era oludda oluwaabi munkoze bubi nnyo obutaleeta bujulizi bunsingisa musango gwa kunyiiza Pulezidenti Museveni kubanga engeri gy'atukalakaseemu mbadde njagala munyiirize ddala'.

Anyanzi15928 703x422

Stella Nyanzi ng'ayombera mu kkooti. EKIF: ALICE NAMUTEBI

KKOOTI ya Buganda Road esingisizza Dr. Stella Nyanzi omusango gw’okukozesa obubi kompyuta ne yeegayiirira omulamuzi Gladys Kamasanyu nti n’ogwokunyiiza Pulezidenti Museveni yandibadde agumusingisa kubanga bulijjo ky'alubirira.

Nyanzi atabukidde mu kkooti n'agamba nti; 'kye nnali nduubirira nkifunye era oludda oluwaabi munkoze bubi nnyo obutaleeta bujulizi bunsingisa musango gwa kunyiiza Pulezidenti Museveni kubanga engeri gy'atukalakaseemu mbadde njagala munyiirize ddala'.

Nga yenna aleekaanira waggulu agambye nti;

'Eky’okubeera omuseegu ekyo nkyemanyiiko era omulamuzi bw'agambye nti bye nnawandiika byali bya buseegu tekinnumye yadde kubanga ekyo kyendi era nja kwongera okulwanirira eddembe ly’abakazi nga mpandiika era nja kukozesa olulimi olubi lwonna kasita ensonga yange ngiggusa'.

Omulamuzi Kamasanyu asingisizza Nyanzi omusango gw’okukozesa obubi kompyuta bwe yawandiika emboozi ng’avvola pulezidenti Museveni nagattako okuvvumiramu maama we omugenzi Esiteri Kokundeka nga ayogera ku bitundu bye ekyekyama.

Omulamuzi Kamasanyu agambye nti kikyamu era kyabuseegu okudda ku Facebook n’ogera ku bitundu by’ekyama eby’omuntu yenna nebwoba obiwaana . Kino Nyanzi kyongedde okumutabula bwazeemu okukubawo agagambo aganene yadde nga omusango gubadde gumusinze nga agamba nti lwelulimi lwagya okukozesa.

Nyanzi yeesabidde bamuwe ekibonerezo ekyamaanyi nga kino kyakusibwa mu kkomera e Luzira mu kifo ky’okumulagira okusasula fayini.

Omusango ogusinze Nyanzi gwakibonerezo kya kusibwa emyaka 3 oba okusasula fayini.

Omulamuzi Kamasanyu agambye nti wakumuwa ekibonerezo enkya ku saawa mwenda ez’olwegulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Otya1 220x290

Rev. bamufuuye ssente eby'okuyimba...

REV. George Nninya Kawuma ow'e Kawempe bamufuye ssente eby’okuyimba n'abivaako n'adda mu kukung'aanya ssente.

Kenzo 220x290

Kenzo alayidde obutaddamu kuyimbira...

Muzaata bwataneetondera sidda ku siteegi-Kenzo

Bukedde TV Live Stream

Bukedde TV Live Stream

Bk 220x290

Bukedde TV Live Stream

Laba wano Bukedde TV Live

Bukedde Tv Livestream

Bukedde Tv Livestream