TOP

Ettaka litadde ssentebe mu kattu

By Martin Ndijjo

Added 1st August 2019

Ssentebe wa LC atabuse n'abaana ba bagandabe abamulumiriza okubatwalako ettaka lyabwe.

Kiz 703x422

abaana; Anna Nalika (ku ddyo) ne banne bwe beemulugunya.

FRED Kizito ssentebe wa zooni ya Lungujja-Kikandwa mu Munisi­pali y’e Lubaga ali mu kattu olu­vannyuma lw’abaana okuvaayo ne bamulumiriza okubatwalako ettaka ng’akozesa olukujjukujju.

Kizito era nga y’abadde ddeereva w’eyali katikkiro wa Uganda, omugenzi Apollo Nsibambi agu­gulana n’abaana ba baganda be abamulumiriza okubagobaganya ku ttaka ng’akozesa olukujjukujju n’alyezza.

Abaana mwenda nga ba­kulembeddwaamu Anna Nalika bagamba nti, tebayinza kukkiriza kojjaabwe kubatwalako ttaka nga batunula era ensonga bazitutte mu baamateeka.

 red izito Fred Kizito

Ettaka erivud­deko emberebezi liri ku ku Block 24 pulooti No. 1004 e Lungujja mu munisipali y’e Lubaga.

Nga bayita mu bannamateeka baabwe aba Nyanzi, Kiboneka & Mbabazi Advocates, bagamba nti ettaka lino lyali lya jjajaabwe omugenzi Maria Mangdalena Nakaima wabula ono yagenda okufa ng’alitadde mu mannya g’abaana abasatu okuli Fred Kizito (akyali mulamu), Birabwa ne Kibalama (abaafa) era nga buli muntu amulaze omugabo gwe we guyita.

Abaana bano abaabadde tebasalikako musale nga bwe baagezaako okusaba Kizito abawe omugabo w’abazadde baabwe basobole oukulaakulanyaawo ne yeerema , kwe kusalawo okugenda mu mateeka.

“Kyannaku nti omuntu eyasi­galawo nga avunaanyizibwa at­wefuulidde. Mu kifo ky’okutuwa buli omu omugabo gw’abazadde be, yasalawo kutugobaganya ne yezza ettaka lyonna awatali amukomako,” Nalika bwe yagam­bye.

 zimu ku nnyumba eziri ku ttaka eryogerwako Ezimu ku nnyumba eziri ku ttaka eryogerwako.

Kizito bwe yabuuziddwa ku nsonga zino yasoose kugaana kwogera ng’agamba ziri mu baamateeka kuba naye ezizze yazikwasizza bannamateeka be aba Katende, Ssempebwa & Co Advocates.

Kyokka oluvan­nyuma yakkirizza ne yeewolereza ng’agamba ebimwogerwako si bituufu n’agamba nti ettaka lye boogerako ye yalinunula okuva ku bantu bazadde baabwe be baaliguza ng’ayita mu kulibagu­lako.

“ Kituufu ettaka liri mu man­nya g’abantu basatu era mwan­nyinaze ne muganda wange nze eyabateekako kubanga baali baamugaso mu bulamu bwange. Kyo­kka Birabwa yagenda okufa ng’ekitundu ekikye akitunze kyonna. Ye Kibalama alina­wo awaasigalira era abaana be baazimbawo n’emizigo nga ne ssente be bazisolooza”.

Yagasseko nti kyam­wewuunyisizza okulaba abaana nga bamututte mu baama­teeka mu kifo ky’okumutuukirira bagon­joole ensonga. Wabula, abaana bakigaanye nga bagamba abayisizza mu bingi era kkooti y’erina okulamula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Osire1 220x290

Bakutte abadde yeeyita dokita n'abba...

POLIISI eriko omusajja gw'ekutte abadde yeeyita omusawo mu ddwaaliro lya Kawempe National Refferal Hospital. Kigambibwa...

Gamba1 220x290

Eddy Kenzo akomyewo ku butaka:...

Eddy Kenzo akomyewo ku butaka: Bamwanirizza nga muzira

Mukadde1xx 220x290

Asobeddwa kibuyaga bw'asudde ennyumba...

Nanfuka agamba nti ennyumba yagudde ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde mu nkuba eyatonnye ng’erimu ne kibuyaga

Bpmutebipix 220x290

Omulabirizi Lubowa akyalidde Mutebi...

E Bungereza yayaniriziddwa Abakristaayo ne Rev. Nathan Ntege. Mu maka ga Ntege Omulabirizi Mutebi ne mukyala we...

Tta 220x290

Poliisi erambuludde engeri gy'okufunamu...

OLUVANNYUMA lw’omugagga Ali Jabar okuyingira n’emmundu mu ddwaaliro lya Kampala Independent Hospital n’agikwasa...