TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssabalamuzi ayambalidde abakubye omulamuzi eccupa ng'asalira Dr. Stella Nyanzi omusango

Ssabalamuzi ayambalidde abakubye omulamuzi eccupa ng'asalira Dr. Stella Nyanzi omusango

By Muwanga Kakooza

Added 4th August 2019

Ssabalamuzi ayambalidde abakubye omulamuzi eccupa ng'asalira Dr. Stella Nyanzi omusango

Sab2 703x422

SSABALAMUZI Bart Katureebe avumiridde ebikolwa eby’efujjo ebyakoleddwa abantu ku  mulamuzi Gladays  Kamasanyu oluvannyuma lw’okusalira eyali omusomesa w’e Makerere Dr. Stella Nyanzi omusango gw’okukozesa obubi emikutu gy’empuliziganya.

Kino kyadiridde abantu okukuba omulamuzi ono akacupa n’okukola effujjo eddala bwe yabadde amaze okusalira Dr. Stella Nyanzi omusango ogwo ku Lwokutaano. Nyanzi yatwalibwa mu mbuga n’avunaanibwa omusango gw’okunyiiza Pulezidenti n’okukozesa obubi emikutu gy’empuliziganya omuli n’olulimi olwesitaza.

Kamasanyu yasingisizza Nyanzi omusango ogw’okukozesa obubi emikutu gy’empulizganya n’agamba nti byeyawandikikako byali byesitaza  n’okuvoola n’amusiba emyezi 18 . Kyokka  ogw’okunyiiza Pulezidenti Museveni n’agumuggyako.

Kyokka ensala y’omusango teyasanyudde bantu bamu ne batandika okukola effujjo n’okwoenoona ebintu. Ye Nyanzi kigambibwa yabadde agezaako okweyambula. Wabula Ssabalamuzi mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa yagambye nti ebikolwa ebyo byabadde bya kiyaaye , ebitaliimu  bugunjufu era ebityoboola ekitiibwa kya kkooti.

Katureebe yagambye nti ebikolwa ebyo tebirina kifo mu nsi ngunjufu kyokka n’asiima omulamuzi ono eyabadde mu kkooti ya Buganda Road olw’obutava mu mbeera n’asigala nga mukkakkamu.Kyokka yagambye nti abaakikoze bajja kukangavvulwa n’agumya nti ekitongole ekiramuzi kigenda kukolagana ne gavumenti okulaba nga kyongera okunyweza ebyokwerinda mu kkooti.

Omuwandiisi wa kkooti omukulu Esther Nambayo n’omuwadiisi w’enkalakalira mu minisitule y’ebyamatteeka Pius Bigirimana nabo baavumiridde ebikolwa bino. Baagambye nti abataamatidde na nsala ya mulamuzi bandyeyongeddeyo mu kkooti eza waggulu mu kifo ky’okukola effujjo.

Baawabudde nti abalamuzi tebaba na ludda wabula bawuliriza enjoyi zombie ez’abakayana ne basala omusango.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.