TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekkubo eringenda okukolebwa litabudde abasuubuzi

Ekkubo eringenda okukolebwa litabudde abasuubuzi

By Moses Lemisa

Added 5th August 2019

Ekkubo eringenda okukolebwa litabudde abasuubuzi

Kub2 703x422

Abatuuze nga bali mu lukiiko

ABATUUZE b’omu  kiteezi  abaliranidde amakubo agagenda okulimwa  town council ye Kasangati bawakanyizza  eky’obutabasasula  ate baweebwa ebbanga lya mwezi gumu nga bavuddewo.

Mu lukiiko olwatudde  ku kkanisa ya balokole eya  Bright Star olwetabiddwamu abakungu ba Town Council ye Kasangati okunnyonyola   abatuuze be Kabaga ne Lubatu Kabaganda Kizingiza  abali okumpi n'amakubo agagenda okugaziyibwa ng'abasinga  abadde basuubirwa okusasulwa amaanyi baakitegeredde mu lukiiko nti  teri agenda kusasulwa 

Olukiiko lwetabiddwamu Umar Lutalo Town Clerk we  Kasangati , Omulangira Joseph Mawanda  omumyuka wa meeya  , Keneth Bagonza yinginiya , Batulumayo Kabunga kansala w’omuluka gwa Kiteezi nga   yakulira ebyensimbi mu Town Council ye Kasangati.

Abatuuze baategeezezza nti basasula omusolo buli mwezi kijja kitya Town Council obutabasula mu bifo byabwe awagenda okuyita amakubo ng’abamu we baasengera mu bitundu obukubo bwali bwa bigere be bazze babugaziya okufuuka amakubo amanene .

 Kabunga yategeezezza nti Town Council ye Kasangati  ekolebwa emiruna 9 n’ebyalo 50 emiruka kuliko ogwe Nangabo, Katadde, Wampewo, Masooli, Gayaza , Kabubu, Bulamu, Watuba ne Kiteezi mu mwaka gwe bye nsimbi 2019 -2020 Town Council yayisizza ssente z’okulima enguudo satu eziri mu muluka gwa Kiteezi  okuli olwa Lubatu Kabaganda 1:50 km , Kabaga Lubatu Kizingiza 2:4 Km ne Kabanda Namarere 0:4Km wamu ze Kirometa 3:09 , yagasseko nti bakalima amakkubo 13 .

Kenneth Bagonza yinginiya wa Kasangati Town Council yategeezezza nti  okusinzira ku mateeka ga town Council tebakirizibwa kusasula  bw’ekinaaba kye tagisizza okusengula abatuuze ku kifuba bajja ku kikola nga basinzira kuteeka , yagambye  abatuuze obutatya  kuba okupiima kutandikira wakati  mu kkubo  ng’e ekkubo ligenda kuba lya mita 12

Town Clerk Umar Lutalo yategeezezza nti  mu kusooka abatuuze abalinanidde amakkubo agenda okulimwa babadde babawadde wiiki biri nga kati guli mwezi gumu babe nga bavuddewo omulimu gutandiike , yagasseko nti buli mutuuze bagenda ku mukwata  bulungi okusinzira ku bugazi bw’ekifo kyalina nga tewali agenda kunyigirizibwa , , oluvannyuma abatuuze beelonzemu akakiiko akagenda okulondoola enkola y’oluguudo n’okulaba ng’abantu tebanyigirizibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.

Hat12 220x290

Bebe Cool atongozezza Kampeyini...

Bebe Cool atongozezza Kampeyini y'okulwanyisa TB oluvannyuma lw'okusaka ensimbi ezikunukkiriza obuwumbi bubiri...