TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekivvulu ky’abalongo bakitaddemu okuwangula ebirabo

Ekivvulu ky’abalongo bakitaddemu okuwangula ebirabo

By Martin Ndijjo

Added 6th August 2019

EKIVVULU ky’abalongo ekitegekeddwa kkampuni ya Vision Group efulumya n’olupapula lwa Bukedde kyongeddwaamu ebirungo. Buli ayingira ajja kuvaayo n’ebirabo mu ngalo ate waliyo n’omukisa okuwangula obukadde 2.

Ima 703x422

Okuva ku kkono Felix Osike owa Sunday Vision, abalongo Kato ne Wasswa Ndikumana, Jackie Tahakini Zibwa owa Post Bank, abalongo Kato ne Waswa Mutagana, Barbara Kaija omukuηηaanya ow’oku ntikko owa Vision Group ne Chris Obora omwogezi wa palamenti abaabaddewo mu lukuηηana lw’okutegeka ekivvulu ky’abalongo.

Ekivvulu kino ekiyitibwa Kampala Twins Festival eky’omulundi ogwomukaaga kyakubeera mu kisaawe e Namboole. Kigenda kubeeramu buli kika kya ssanyu eriva ku mizannyo egy’enjawulo egitegekeddwa okunyumira abalabi.

Penlope Nankunda omukwanaganya w’ekivvulu kino yagambye nti bakyongedde ebinnonnoggo nga kyakubeerawo nga August 25 mu kisaawe e Namboole era akunze abantu okubaayo mu bungi ng’okuyingira kwa 10,000/-.

Abateesiteesi n’abakitaddemu ssente okuli; aba Post Bank, Parliament of Uganda ne Pepsi ku Mmande baakuηηaanide ku kitebe kya Vision Group efulumya ne Bukedde ne bannyonnyola engeri gye bagenda okusanyusaamu abantu n’ebirabo bye bagenda okugaba.

Barbra Kaija omukuηηaanya wa Vision Group ow’oku ntikko yagambye nti abantu tebalina kusubwa kivvulu kino kubanga kyanjawulo nnyo.

“Mu Uganda abalongo batwalibwa nga bantu ba njawulo y’ensonga lwaki batuumibwa amannya ag’enjawulo ku mannya g’abantu abalala.

Ekivvulu kino kikuwa omukisa okusisinkana abantu bano okuli abato n’abakulu n’okumanya ebintu ebibakwatako.

Jackie Tahakani Zibwa owa Post Bank yagambye nti bagenda kuwa abantu omukisa okuggulawo akawunti n’okubasomesa ku ntereka ya ssente n’okwetegekera obulamu obw’omu maaso.

Waliyo n’okuwangula ebirabo omuli n’okuyingira mu kyuma okuyoola ssente.

Ye Chris Obore omwogezi wa palamenti agamba nti abaagala okufuna obukodyo bw’okuzaala abalongo naddala abawala b’ennaku zino abatayagala kugenda mu leeba emirundi emingi (ayagala kuzaala mulundi gumu oba ebiri akiggale) bafunye omukisa okusisinkana n’okwebuuza bassaalongo ne bannaalongo abagenda okubeerayo.

EMPAKA Z’OKWOLESA EBITONE

Mu nteekateeka ey’enjawulo ekoleddwa, bawadde omukisa abalongo abalina ebitone okwolesa olwo bawangule ssente obukadde 2 eri abo abanaasinga .

Okwetaba mu mpaka zino, mwekwate ku katambi ka vidiyo nga mwolesa ekitone kyamwe oluvannyuma mukateeke ku mikutu gyammwe egya face book nga mugattako # Twins festival 2019.

Abalina ebitone ebinaasinga okucamula abantu bajja kuweebwa omukisa okusanyusa abantu ku lunaku lw’ekivvulu n’okuvuganya ku ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...