TOP

Eyatta aba bodaboda bamukalize emyaka 33

By Musasi wa Bukedde

Added 6th August 2019

Waakuvaayo nga wa myaka 68.

Seruweb 703x422

Serunkuuma (ku kkono) mu kkooti.

Bya SAMUEL KANYIKE
 
OMULAMUZI akalize omutemu omulala eyatta owa bodaboda n’amubbako pikipiki ye.
 
John Sserunkuuma gwe baasingisizza omusango eggulo ne bamusalira okusibwa emyaka 33 oluvannyuma lw’okumeggebwa omusango gw’okutta Moses Johnson Kazoora.
 
Serunkuuma 35, waakuva mu kkomera nga wa myaka 68, bw’anaaba amazeeko ekibonerezo ekyamuweereddwa.
 
Omulamuzi Vincent Okongo owa kkooti Enkulu etuula e Luweero ye yakalize, n’agamba nti ono muzzi wa misango ow’olulango eyeetaaga okumala emyaka emingi mu kkomera aveeyo ng’aboneredde.
 
Obujulizi bwonna obwaleeteddwa bwakakasizza nti Sserunkuuma omutuuze w’e Lwomwa mu Nakaseke, yeenyigira butereevu mu kutta owa bodaboda Kazoora mu ngeri ey’obukambwe ennyo!
 
Nga June 1, 2016, Kazoora eyali ow’emyaka 27, nga yali mutuuze w’e Kinyogoga mu disitulikiti y’e Nakaseke baamusiba omuguwa mu bulago ne bamutema ebiso ku mutwe ne batwala pikipiki ye.
 
Oluvannyuma poliisi yalondoola abatemu n’ekwata Sserunkuuma era mu kuwoza n’akkiriza nti omusango yaguzza.
 
ALINA EKIBONEREZO EKIRALA EKY’EMYAKA 18
Sserunkuuma asangiddwa ali ku kibonerezo ekirala kye baamusalira omwaka oguwedde, eky’okusibwa emyaka 18 olw'okubbisa eryanyi.
 
Serunkuuma yabadde asabye omulamuzi amuwe ekibonerezo ekisaamusaamu eky'okusibwa emyaka 15 addeyo alabirire bakadde be omuli gwe yaleka ku kitanda n'abaana be basatu ne nnyaabwe, wabula omulamuzi n’abigaana ng’agamba nti ono muzzi wa misango ow’olulango eyeetaaga okusibwa emyaka egiwerako abonerere.
 
Omulamuzi yagasseeko nti ne mu kuwoza omusango, Sserunkuuma teyalaze kabonero konna ka kubonerera.
 
Abantu mu kkooti nabo bwe baawulidde nga Sserunkuuma avulungutana asaba ekibonerezo ekitono nti alabirire abantu be, ne beesooza nga bwe beebuuza oba Kazoora gwe yatta teyaliiko babe!
 
Abamu baagambye nti n’ekibonerezo ekyaweereddwa Sserunkuuma kitono era baabadde baagala awanikibwe ku kalabba kubanga naye yatta omuntu gw’ataalinako nsonga yonna okuggyako okumubbako pikipiki ye.
 
Ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, Omulamuzi yoomu Okongo yasalidde Patrick Lubega 29, ekibonerezo kya kusibwa emyaka 35, olw’okutta owa bodaboda n’amubbako pikipiki.
 
Omusango Lubega yaguzza May 28, 2014 ku kyalo Kagango Lukenku mu Luweero bwe yatta Moses Kakooza bwe baali babeera bombi ku kyalo era nga bakolera ku siteegi y’emu e Kiwoko n'abulawo ne pikipiki ye UDR 747R n'ayolekera Kampala n’atandika okuvuga bodaboda e Nakulabye.
 
Oluvannyuma baamukwata ng’abbye bodaboda endala eya Byaruhanga era bagenda okumutuusa ku poliisi ne kizuulwa nti yali ku fayiro endala ey’okutta Kakooza era n’aggulwako emisango gyombi.
 
Omulamuzi mu kuwa ensala ye yagambye nti abantu bano bagwana ebibonerezo ebinene okuziyiza omuze gw’okubba n’okutta aba bodaboda ogucaase ennyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top11 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo...

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo z’amapaapaali akola ku maaso ne kookolo ? Soma wano mu mboozi z'omukenkufu

Wat12 220x290

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula...

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula Vipers mu Stambic Cup

Kot1 220x290

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti...

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti Getrude Nakabira afudde

Faz1 220x290

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu...

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu luwummula n'akomyawo faaza Musaala

Lip2 220x290

Mungobye ku kyalo naye nja kufa...

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n’omuntu