TOP

ISO ekutte abasuubuzi ba pikipiki abalala

By Joseph Makumbi

Added 6th August 2019

EKITONGOLE ekikessi ekya ISO kikutte abasuubuzi abalala babiri e Katwe be balumiriza okwenyigira mu bubbi bwa pikipiki.

Bodaweb1 703x422

Kintu ne Bakka.

 Bya JOSEPH MAKUMBI ne ERIA LUYIMBAZI

EKITONGOLE ekikessi ekya ISO kikutte abasuubuzi abalala babiri e Katwe be balumiriza okwenyigira mu bubbi bwa pikipiki.

Vianney Kintu 39, oluusi eyeeyita Kakaayira omutuuze w’e Bulenga ne Drake Bakka 34, omutuuze w’e Nde­jje be baakwatiddwa. Bombi basuu­bula sipeeya wa pikipiki omukadde mu Wansanso zooni okuliraana Mu­ganzirwazza e Katwe mu Kampala era boogerwako ng’abagagga b’e Katwe.

Bakka yakwatiddwa ku Lwokusatu ekiro ate Kintu baamukutte ku Lwa­kutaano lwa wiiki ewedde era bombi bakuumirwa mu kaduukulu ka ISO nga bwe banoonyerezebwako.

Aba ISO balumiriza nti, oku­noonyereza kwabwe kwabalaze nti, Bakka, Kintu n’abalala abaakwatibwa poliisi n’abamu abatannakwatibwa, be babadde bagula pikipiki enzibe mu Wansanso ne bazitema sipeeya gwe baguza abasuubuzi mu biwagu.

Kyokka bo abaakwatiddwa baat­egeezezza mu sitatimenti ze baakoze nti, pikipiki ze babadde batema sip­eeya, babadde bazigula mu makubo matuufu era abantu be babadde bazigulako babadde basooka kuba­saba kaadi kwe baazigulira ne bakola n’endagaano.

Baagambye nti, pikipiki ze baba beekengedde, babadde bazitwala ku LC era ababa bateeberezebwa okuba ababbi, babakwasa poliisi.

 dduuka lya akka mu ansanso Edduuka lya Bakka mu Wansanso.

 

 Ebikwekweto by’okukwata aba­gambibwa okwenyigira mu bubbi bwa pikipiki byatandikira ku kuk­wata John Bosco Mugisha amanyid­dwa nga Mukiga ne Aloysius Tamale eyeekazaako “Young Mulo” abeeko­baana bombi ne batta owa bodaboda Derrick Mulindwa gwe baatuga nga kkamera zibakwata oluvannyuma ne bamukuba ennyondo era akat­ambi ako akaatiisa buli muntu ne kasaasaana nnyo.

Bwe baakwatibwa baategeeza nti baludde nga batta aba bodaboda ne bababbako pikipiki era ne baziguza abagagga nti era n’eya Mulindwa baabawa emitwalo 20 ne bazigabana, wabula babadde bakyabanja “bbaalansi”.

Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda yagambye nti, ekizi­bu ekisinga obunene kiri ku bagagga abagula pikipiki enzibe n’ategeeza nti waliwo abalala babiri be bakyayigga era essaawa yonna bajja kubafuna.

Mu bantu ISO be yaakakwata ku by’obubbi bwa bodaboda kuliko owa poliisi SPC Yasin Lusiba 36, akolera ku poliisi e Katwe, Nalukoola Sser­wadda 30, owa difensi w’omuluka gw’e Katwe I kw’ossa Paul Kibirige 26, asuubula sipeeya n’abalala okuli.Moses Waako 27, Richard Adriko 36, ne Moses Jjunju ow’e Nateete.

POLIISI EKUTTE GW’ERUMIRIZA OKUTTA ABA BODABODA 8

Poliisi nayo eyongedde amaanyi mu kuyigga ababba bodaboda era kikutte omusajja gwe balumiriza nti abadde akolagana n’akabinja ka Young Mulo.

Edward Nuwamanya, amanyiddwa nga Eddie ye yakwatiddwa era om­wogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti bamufunyeeko obujulizi mu misango gy'okutta aba bodaboda munaana.

Enanga yagambye Nuwamanya abadde akolagana ne Mulo mu kubba n'okutta aba bodaboda mu bitundu eby’enjawulo.

Yagambye nti bongedde n’okufuna obujulizi obulala ku musa­jja Jimmy Kayirimuko omusuubuzi wa pikipiki enkadde gwe baakutte wiiki ewedde.

Enanga yalambuludde nti baafu­nye obujulizi obuluma Kayirimuko bwe bazudde akuuma akaateekebwa mu pikipiki ne kalondoola ekidduka buli we kiri (Tracking device) akaali mu pikipiki UEW 256G eya Da­miano Ssekalaala eyattibwa Young Mulo ne Mugisha.

Poliisi egamba nti kino kyayongedde okubakakasa nti Kayirimuko y’omu ku ba­suubuzi ababadde bagula pikipiki ezibbid­dwa akabinja ka Mulo.

POLIISI ENENYEZZA ISO

Poliisi eggulo aba ISO olwa kye yayise okukwata omu ku bantu aba­giyambye okugiwa amawulire agagasizza ennyo okutuuka okukola ebikwe­kweeto n

 bazuula pikipiki enzibe. Kiddiridde ISO okukwata Amir Ssewankambo ow’e Mukono ng’ono aludde ng’akolagana ne poliisi okugiwa amawulire ku bamenyi b’amateeka.

Enanga yagambye nti Sse­wankambo yali musaale mu kuwa poliisi amawulire kwe yasinziira okukwata ababbi ba bodaboda n’abatunda sipeeya waazo nga poliisi yasobola okuzuula pikipiki 45 ne nnamba puleeti zaazo wabula n’akwatibwa ISO mu ngeri etaat­egeerekeka.

Yagambye nti aba ISO bandibadde beebuuza ku poliisi ne basobola okuzuula n'okumanya omulimu Ssewankambo gw’akoledde poliisi. Bino byay­ongedde okukkaatiriza akakuub­agano akaludde nga koogerwako wakati wa poliisi ne ISO.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...