TOP

Yeegaanyi ab’e Lusanja ku ttaka

By Musasi wa Bukedde

Added 6th August 2019

Avunaanyizibwa ku ttaka ly’e Lusanja yeegaanye okuteeka omukono ku ndagano eziraga nti ye yaguza abantu abalitiko mu butongole.

Pa 703x422

BYA ROSEMARY NAKALIRI, IGNAT IUS KAMYA NE EDWARD LUYIMBAAZI

Paul Katabazi Bitalabeho, mutabani wa Paul Katabazi era nga y’avunaanyizibwa ku ttaka ly’e Lusanja yategeezezza kkooti nti talina ndagaano ya mutuuze yenna gye yateetakako mukono kubali mu kkooti eraga nti yamuguza ekibanja mu butongole Katabazi yannyonyodde kkooti nti ettaka lyabwe liri ku bunene bwa yiika 75 era nga muganda we Chrispa Bitalabeho alina ebibanja bye yatunda e Lusanja wabula si ly’e Mpererwe Ssekanyonyi mu disitulikiti y’e Kampala erikaayanirwa abatuuze b’e Lusanja n’omuggaga Medard Kiconco Katabazi era yakakasiza kkooti nti ye yaguza Kiconco ettaka mu 2013 wabula nga we yamuguliza kwaliko abantu 17 nga ku bano basatu bokka be baabadde mu kkooti nti era abalala 131 tabamanyi ngeri gye beesenza ku ttaka lyabwe.

Charity Nabasa pulida eyakiikiridde minisita Persis Namuganza yategezeza kkooti nti omuntu we teyasobodde kulabikako.

Omulamuzi Asiimwe yategeezezza kkooti nti waakutuula ne bannamateeka ku njuyi zombi basalewo oba nga kyetagisa okugenda ku tttaka eryo balabe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi