TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abagambibwa okulumbaTotal ya Besigye basimbiddwa mu kkooti

Abagambibwa okulumbaTotal ya Besigye basimbiddwa mu kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 7th August 2019

ABASAJJA babiri abaakwatibwa ku bulumbaganyi obwakolebwa ku ssundiro ly’amafuta erya Besigye erya Total e Nsambya baasimbiddwa mu kkooti y’amagye e Makindye ku Mmande ne bavunaanibwa.

Web1 703x422

Okello (ku kkono) ne Lubanga mu kaguli ka kkooti y’amagye.

Bano kuliko Banuli Lubanga 33, omuserikale w’amakomera ng’akuuma Kigo ne David Okello 19, omukuumi mu kkampuni y’obwanannyini eya Rock Security Ltd nga mutuuze w’e Busaabala.

Banuli nga yatemwako okugulu okumu olw’okukubwa amasasi, ne munne baasimbiddwa mu maaso ga kkooti ekubirizibwa Lt. Gen. Andrew Gutti ne basomerwa emisango ebiri okuli egy’okusangibwa n’emmundu awamu n’amasasi.

Oludda oluwaabi lugamba nti nga June 22, ku Total ya Besigye e Nsambya baasangibwa n’emmundu ya UPDF nnamba SAR ESO -80707640-09134 ng’ate si bajaasi ba UPDF. Bano era bavunaaniddwa okusangibwa n’amasasi 5 agaali gakola obulungi nga nago ga UPDF.

Emisango gyonna baagyegaanye nti si bituufu wabula oludda oluwaabi olukulem ABAVUBUKA okuli Edward Nsubuga, James Monday, Henry Mugume, Ssentongo ,Murashid ne Namanya basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti y’eLuzira Carol Byakutaga nebasomebwa omusango gwa kireresi.

Kigambibwa nti oluvanyuma lwabatuuze b’e Kitintantale okwemulugunya ku bavubuka abaali basuse okubatigomya mu kiro nga bababba, poliisi yasalawo okukola ekikwekweto era nebakwatibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu