TOP

Liizi etabudde abaakatalek’e Bugoloobi

By Edward Luyimbazi

Added 7th August 2019

WAKYALIWO okusika omuguwa mu basubuuzi b’akatale k’e Bugolobi ku ngeri gye bayinza okufuna liizi y’akatale kano basobole okukeezimbira. Abamu bawakanya eky’okugifuna ate abalala ne bakikiriza.

Kola 703x422

Akatale k’e Bugoloobi

Abasuubuzi abeegattira mu kibiina kya Benghazi be bamu ku bawakanya okuwa liizi akatale kano nga bagamba nti olukiiko oluzimbi olw’akatale kano olwa Middle East Bugolobi Market Traders Development Association (MEBTDA) teruyise mu makubo matuufu kugoba ku liizi eno.

Ssentebe w’ekibiina kya Benghazi, Salim Miiro agamba nti aba MEBTDA liizi eno bagigobye bubi kubanga balina ekigendererwa eky’okwagala okutwala ekyalo Jambula ekibaliraanye ekitali kituufu.

Yagambye nti olukiiko lwa MEBTDA lugoba ku kufuna liizi y’akatale kano kyokka tebeebuuza ku bakulembeze ba kyalo akatale kano kwe kali.

Baakikola bokka era tewali lukiiko lwe baali bataddewo okubuulira abasuubuzi we batuuse ku nsonga z’okufuna liizi y’akatale kano.

Miiro era agamba nti waliwo ne ssente ezisoloozebwa okuva mu basubuuzi ze batamanyi bwe kityo ayagala ebyokufunira akatale k’e Bugoloobi liizi biyimirire okutuusa ng’abasubuuzi bonna babyenyigiddemu era n’agamba nti KCCA egira esigaza ekyapa ky’akatale kano.

Wabula, ye Mohammed Sembuya, ssentebe w’olukiiko oluzimbi olwa MEBTDA yategeezezza nti abantu bonna abawakanya okufuna liizi si basubuuzi wabula bapangisibwa kwagala kugootaanya nteekateeka zaabwe era tebali waggulu w’amateeka.

Agambye nti mu kaweefuube ono gwe baliko bona batambulira ku mateeka era tebakkiriziganya na kya KCCA kusigala ng’ekuuma ekyapa ky’akatale kano.

Sembuya yategeezezza nti byonna bye bakkiriziganyaako ne KCCA okusooka okubituukiriza byaggwa dda ng’okuwandiisa abasuubuzi bonna abakolerawo.

Raynold Rujakabwa okuva mu kakiiko k’ebyettaka aka Kampala yategeezezza nti ekyapa ky’akatale k’e Bugoloobi, KCCA ekirina naye eby’abasubuuzi bano okubawa liizi bibadde tebinnateekebwa mu nkola, nga bakyalinda lukiiko lwa kabinenti okwekkenneenya enkola ey’okugabira obutale liizi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...