TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kadaga agugumbudde Abazungu ku butayamba Uganda.

Kadaga agugumbudde Abazungu ku butayamba Uganda.

By Muwanga Kakooza

Added 7th August 2019

Kadaga agugumbudde Abazungu ku butayamba Uganda.

Sat 703x422

SIPIIKA Rebecca Kadaga agugumbudde amawanga agagaba obuyambi olw’okulemererwa okutuukiriza ekisuubizo ky’okuyamba Uganda okuyimirizaawo abanoonyi b’obubudamu abayingira muno  buli lukya.

Uganda ekwata kyakubiri mu nsi yonna mu mawanga agasinga okubaamu abanoonyi b’obubudamu era erimu abanoonyi b’obubudamu abasoba mu kakadde ng’abasinga bava South Sudan, Congo   n’ewalala.

Wabula Kadaga yagambye:  ‘’Waliwo olukung’ana ku nsonga eno olwetabwamu amawanga amaggagga okwali n’abakumbeze baago mu 2017 kyokka wadde gaakola okusuubiza okuyamba Uganda okuyimirizaawo abanoonyi b’obubudamu mangi tegaatuukiriza’’ Kadaga bwe yagambye.

Bino yabyogeredde mu lukung’ana lwa ba sipiika ba palamenti z’amawanga ga Afrika olwatudde e Midrand South Africa.

Yagambye nti Uganda yetaaga ssente nnyingi okuyimirizaawo abanoonya obubudamu okugeza okubaliisa,okubasomesa,okubajjanjaba n’ebirala era nga abagabi b’obuyambi beetaaga okugiyamba.

Yagambye nti abanoonyi b’obubudamu abali mu Uganda tebali mu nkambi n’olwekyo bakirizibwa okutambulako okugenda mu bitundu ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

Kagame 220x290

E Rwanda bongezzaayo kalantiini...

Gavumenti ya Rwanda yalangiridde nti eyongezzaayo ennaku abantu ze balina okumala nga tebava waka okutuuka April...

W1240p169s3reutersmedianet68 220x290

Coronavirus: World Bank ewadde...

Bbanka y’ensi yonna yawadde Kenya obuyambi bwa doola za Amerika obukadde 50 okuyambako mu kutangira okulwanyisa...

Kyuka 220x290

Abantu 1,000 bafudde Corona mu...

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu...

Whatsappimage20200402at65210pm 220x290

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire...

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire obukadde 500 lwa kumwonoonera linnya.