TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agambibwa okubba essimu bamukubye mizibu! Poliisi y'emutaasizza

Agambibwa okubba essimu bamukubye mizibu! Poliisi y'emutaasizza

By Eria Luyimbazi

Added 7th August 2019

ABAKUUMI abakolera ku kizimbe kya Park View mu Kampala bayitiddwa bukubirire okutaasa omuvubuka agambibwa okwekobaana ne banne ne babba ebintu mu dduuka gye baagenze nga beefudde abaguzi.

View36772 703x422

Omukuumi ku kizimbe kya Park View ng'atwala Kamugisha ku poliisi ya Mini Price oluvannyuma lw'okumutaasa okuva ku bantu abaabadde bamugajambula

Bino byabaddewo ku Lwokusatu abavubuka basatu bwe baagenze ku dduuka ly’omusuubuzi Charles Luzige akolera ku kizimbe kya Park View nga beefudde abaguzi kyokka ne babba amasimu 2 ne babulawo nago oluvannyuma lw’okubuzaabuza omukozi mu dduuka lino.

Luzige yagambye abavubuka bano baasanze omukozi mu duuka nebamubuzabuza nti bagala kugula bukuufu bw’omubulago wabula abairi ku bbo nebabba simu bbiri mu kawunta ne babulawo nazo kwekukwata munnaabwe  Samuel Kamugisha gwe baabadde naye abantu ne batandika okumugajambula.

Yagambye nti olwakutte Kamugisha abantu ne bamuyiikira ne batandika okumukuba wabula abakuumi ku kizimbe kino ne banguwa okumutaasa n'atwalibwwa ku poliisi ya Mini Price  n'aggulibwako omusango gw’obubbi oguli ku fayiro nnamba SD 18/07/08/2019 n'aggalirwa.

Wabula Kamugisha yeegaanyi eby’okubeera omubbi n'agamba nti ye yavudde e Kasese okujja mu Kampala okugula engatto n’obukuufu bw’omu bulago wabula n'alemwa okunnyonnyola ebikwata ku banne be yabadde nabo abaatutte essimu bbiri.

Luke Owesigire, amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano yagambye nti okunoonyereza kwatandise dda okuzuula oba Kamugisha alina be yabadde nabo bwe baagenze ku dduuka lya Luzige n’okuzuula oba waliwo simu ze babbye .

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ne Kagame...

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana...

Katolubwamalubaga2 220x290

Honalebo ennuuni eyo tugende nayo...

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b’e Lubaga South ebintu omwabadde...

Sengendo2002web 220x290

Twagala abakazi abateekomomma mu...

Abasajja banoonya abkazi baakuwasa nga tebeekomomma mu kulaga amapenzi, abalungi ate nga baabuulirirwa

Sharonweb 220x290

Banoonya abasajja abateemotyamotya...

Abakazi abanoonya abasajja abateemotyamotya mu laavu.

Prowew 220x290

Proline etutte Matia Lule

Ekifo ekyabadde ekya Shafiq Bisaso ku Proline kitwaliddwa Matia Lule.