TOP

Nwagi olw’e South Afrika terumusaze

By Musasi wa Bukedde

Added 8th August 2019

Winnie Nwagi acamudde Don Bahati ne banne ne bamuyiira ssente

Sou1 703x422

Don Bahati nga afuuwa Nwagi ssente

WINNIE Nwagi taggwaayo! Acamudde ab’e South Africa ne bamuyiira ssente.

Ng’oggyeeko akagoye ‘ssonsomola’ ke yeesaze, ennyimba ze n’engeri obwedda gy’anyenyamu ekiwato byacamudde abantu abaabadde ku kabaga ne bagwa e Kasawo ne bamufuuwa ssente ez’okumu kumu.

 ahati ku kkono ne atsha ku ddyo Bahati (ku kkono) ne Katsha ku ddyo

Ono yabadde omu ku bayimbi ku kabaga ka Bannayuganda abali b’obulamu e South akaatuumiddwa ‘Big Spenders party’ mu kibuga Johannesburg. Abayimbi abalala kwabaddeko Spice Diana ne Chozen Blood.

Abavubuka nga bakulembeddwaamu Don Bahati, Katsha Da Bank n’abalala baavuganyiza mu kulaga ssente era Nwagi olwalinnye ku siteegi wabadde oyinza okulowooza bali ku mpaka z’ani asinga okumufuuwa ssente ennyingi anti ezimu baazimuyiiridde buyiizi.

 wagi hozen lood ne pice iana Nwagi, Chozen Blood ne Spice Diana.

Nwagi yasoose kwambala kagoye akatangalijja kyokka bwe yatuuse okugenda ku siteegi yasuddemu akalala abaabaddemu okulaga ebithambi era abasajja bangi  maaso gaabadde ku lutimbe manya siteegi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.

Hat12 220x290

Bebe Cool atongozezza Kampeyini...

Bebe Cool atongozezza Kampeyini y'okulwanyisa TB oluvannyuma lw'okusaka ensimbi ezikunukkiriza obuwumbi bubiri...