TOP

Abasuubuzi b’e Kaleerwe balwanye ne poliisi

By Moses Lemisa

Added 10th August 2019

ABASUUBUZI batabukidde poliisi ne bagiggyirayo ebijambiya lwa KCCA kuwamba bintu byabwe kye bagamba nti kisusse.

Laba 703x422

Omu ku basuubuzi ng’ayolekezza Kasembeza ekiso okumutema.

Aba KCCA baasoose kuyoola mmaali yaabwe, ne babakanyugira amayinja, ekyawalirizza poliisi okukubamu ttiya gaasi n’amasasi mu bbanga n’ekwatako abamu ku bo.

Aba KCCA bwe baagenze, abasuubuzi bano baatandise okuziba enguudo ne baziteekamu emisanvu ekyaviiriddeko akalippagano k’ebidduka. Poliisi yayitiddwa wabula abaserikale babiri bokka be baasobodde okutuuka.

Abasuubuzi baalabise nga baabasinzizza amaanyi era omu ku bano yakutte omumyuka wa Oc w’oku Kaleerwe, Twahir Kasembeza amataayi n’amugalulira ekiso okumutema.

Wano abamu ku basuubuzi baalabye munnaabwe ky’akola kikyamu ne bamukwata ne bamuggyawo oluvannyuma abaAbasuubuzi serikale abalala okuva e Wandegeya bazze ne bakuba amasasi mu bbanga n’omukka ogubalagala okubagumbulula kuba baabadde tebasalikako musale.

Abaserikale baggyeewo emisanvu mu nguudo era mmotoka ne ziddamu okutambula embeera n’edda mu nteeko.

Abavubuka obwedda bagufudde mugano okunyakula obusawo ku bakazi n’amasimu nga waliwo n’emmotoka ezaayasiddwa endabirwamu .

Ku Lwokusatu lwa wiiki eno, abaserikale ba KCCA baakutte abamu ku basuubuzi ng’ekisinga okwewuunyisa bonna baayimbuddwa kyokka emmaali yaabwe poliisi n’egisigaza.

Abasi Kimbugwe, omu ku basuubuzi b’amatooke, yategeezezza nti akolera munda wabula kw’olwo yabadde agenze kunona mwana ku ssomero aba KCCA ne bamukwata.

Agamba nti baamututte n’abakwate abalala era bwe baatuuse e Nakawa ne bamusaba ssente emitwalo 20 nga zino mukyala we ye yazisasudde. Abasuubuzi baafiiriddwa ebimeeza kwe bakolera , ebyamaguzi n’ebirala.

Wabula, abamu ku bakulembeze abatwala obutale bw’oku Kaleerwe n’aba-suubuzi abakolera munda ku midaala baagambye nti bazze balaga obutalibumativu bwabwe ku bakolera ku nguudo kuba bo basasula omusolo mu KCCA n’abasuubuzi ne basasula empooza ekitali ku bakolera ku nguudo.

Abalala balumiriza bannannyini butale okuba n’omukono mu kusolooza ssente ku bakolera ku nguudo kye bagamba nti nakyo kibasibyeko abantu bano.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.

Hat12 220x290

Bebe Cool atongozezza Kampeyini...

Bebe Cool atongozezza Kampeyini y'okulwanyisa TB oluvannyuma lw'okusaka ensimbi ezikunukkiriza obuwumbi bubiri...

Freskid10 220x290

Fresh Kid akunze abato okweyiwa...

Fresh Kid akyaddeko ku kitebe kya Vision Group n'akunga abazadde okuleeta abaana baabwe mu kivvulu kya Toto Christmas...