TOP

Eyali omubaka Bbosa akubye embaga makeke

By Joseph Mutebi

Added 10th August 2019

EYALI omubaka wa Palamenti owa Mawokota South, Kenneth Joseph Kiyingi Bbosa akubye embaga makeke.

Soma 703x422

Katikkiro Mayiga (addiridde abagole ku kkono) bazadde ba Bbosa , Ssaalongo Joseph Lutalo Bbosa (mu kkooti eya bbulu) ne mukyala we. Okuva ku ddyo, Joyce Ssebuggwawo addiriddwa bazadde b’omuwala Roy Mayinja ne mukyala we, Namasole Ruth Nakirijja.

Yagattiddwa omusumba omuggya ow’essaza ly’e Masaka, Bp. Serverus Jjumba era bano be bagole be yasoose okugatta bukyanga afuuka musumba. Omukolo gwabaddewo ku Lwokutaano mu Lutikko e Lubaga.

Gwetabiddwaako Katikkiro Charles Peter Mayiga, ne bakatikkiro abaawummula, Dan Muliika ne Mulwanyammuli Ssemwogerere.

Oluvannyuma lw’okugattibwa, abagole baagenze butereevu ku Forest Park Beach e Buloba gye baasemberezza abagenyi baabwe abasusse mu 3,000, okwabadde abagagga b’omu Kampala ssaako abasama okuva e Bungereza, omugole Renah Nassuuna Kiyingi gy’akolera.

Amerika ne German, Bannamawokota Bbosa gye yali akiikirira, bafaaza ne bannaddiini abalala.

Katikkiro Charles Peter Mayiga, yawadde abavubuka amagezi abali mu bifo eby’obuvunaanyizibwa okukimanya nti omusajja yenna oba omukyala alina okubeera n’omubeezi ng’ate bali mu bufumbo obutukuvu kubanga kino kyongera abantu okubeesiga.

Yayongeddeko nti: “Era ssebo Kenneth Kiyingi Bbosa emabegako wali mubaka wa palamenti akiikirira Mawokota nga tolina mukyala, wabula abantu ne bakwesiga. Kati k’ofunye omubeezi ate obwesige bujja kweyongera.” Katikkiro yategeezezza nti bazadde b’abagole abamanyi bulungi okuli Joseph Lutalo Bbosa omusuubuzi mu Kikuubo n’omukyala Nnaalongo Bbosa nti ne bwe yali tannafuuka Katikkiro baali mikwano gye, bwatyo n’abasanyukirako.

Omugole omukazi azaalibwa Abagenyi abalala baavudde mu Namasole Ruth Nakirijja owa Ssekabaka Jjemba ate taata ye Roy Mayinja.

Ye Omusumba Jjumba yagambye nti abagole bano baamukisa kuba be yasookeddeko okugatta bukya afuuka Omusumba omujjuvu era nga si ye yabadde agenda okubagatta, naye Ssaabasumba Lwanga yamusabye amukiikirire era teyasibyemu kubanga omubaka Kiyingi aludde ng’amumanyi ne bazadde be bantu baddiini nnyo ate ab’obuvunaanyizibwa.

Yabasabye bakulembezenga Katonda mu buli kye bakola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...