TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebyemikono biggulira omuyizi obulamu obw’omu maaso

Ebyemikono biggulira omuyizi obulamu obw’omu maaso

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2019

kinEbyemikono biggulira omuyizi obulamu obw’omu maaso

Jip2 703x422

Abayizi ba Gayaza Junior School nga baluka ebibbo.

ENSANGI zino omuyizi kirungi okufuluma essomero nga mujjuvu. Ono aba asobola okukozesa omutwe, omutima gwe n’emikono. Omuyizi afunye bino kizibu okubonaabona n’okunoonya emirimu. Bw’aba alina ky’asomeredde, emirimu bw’aba tannagifuna ayiiya n’atandikawo ogugwe ogw’emikono.

Amasomero agamu ennaku zino ono ye kaweefube gwe gatandise, okufulumya omwana omujjuvu ataalemwe nsi eno. Emmanuel Lule Patrick omusomesa ku ssomero lya Mengo SS yagambye nti basomesa abayizi eby’emikono nga baluubirira okuzimba abayizi basobole okweyimirizaawo.

Yategeezezza nti abayizi abamu batandika n’okubifunamu ssente nga bakyasoma. Basomesa abayizi okusiiga ebifaananyi, okubajja, okubumba ensuwa ebissibwamu ebimuli kwogatta okuluka ebitambaala, n’obukomo bwe baluka mu buguwa bw’engatto.

Lule agamba nti tebakoma ku kusomesa bayizi byamikono bibuuzibwa mu bigezo naye balina ne kiraabu ya Art, ng’eno buli muyizi waddembe okugyegattako wadde takola Art.Mu kibiina, ebintu ebikolebwa abayizi bitundibwa era ekimu ku biruubirirwa by’ekibiina kwe kubangula abayizi mu byemikono n’okubayigiriza okufuna ssente mu bye bakola.

Ssente eziva mu bintu bye bakoze zikozesebwa okuddamu okubagulira ebikozesebwa ebirala ne basobola okugenda mu maaso nga bassa mu nkola ebyo ebibeera byabayigirizibwa edda kibasobozese okwongera okubanguka.

Abayizi abali mu kibiina bagenda mu myoleso nga mu Trade Fair ebeera e Lugogo n’ogwategekebwanga KCCA nga baluubiriramu okuyigiriza abayizi engeri y’okwogerezeganyaamu n’abaguzi nga batunda ebintu byabwe eby’emikono.

 yan dwin sendagire owa engo nekimu ku bifaananyi byasiiga natunda Ryan Edwin Ssendagire owa Mengo n’ekimu ku bifaananyi by’asiiga n’atunda.

Wabula tugenderera emyoleso gye tubatutte kuba beetaaga kugenda mu ginaabawa essuubi mu bye bakola. Omuyizi akulembera banne mu kiraabu Ryan Edwin Ssendagire S.6 yagambye nti ekibiina kimuyambye okwongera okubanguka mu bintu by’akola era atandise okubifunamu ssente ng’akolera awaka.

Asiiga ebifaananyi, abalukira emiguwa egikwata ensuwa n’ebintu ebirala. Ebifaananyi by’asiiga abitunda bbeeyi ya njawulo ng’asinziira ku bunene bw’ekifaananyi n’ebintu byakozesezza. Agamba nti yatandikira ku 50,000/- wabula nga kati waliwo by’atunda 100,000/- oba okusingawo.

ENGERI SSENDAGIRE GYAKWATAGANYA OKUSOMA N’OKUKOLA EBYEMIKONO

Mu ntandikwa nasiiganga bifaananyi by’abantu taata, Eric Mugisa Gitta be yandeeteranga. Ebiseera ebisinga nga b’akola nabo mu kkampuni ya Inovoc Business Solutions be bampagira ne mikwano gye.

Kati ne ku ssomero, nafunayo bayizi bannange, abannyamba okunnoonyeza ku bantu abaagala okubasiigira ebifaananyi. Buli gwondeetera, ekifaananyi bwe kisasulwa abeerako ssente zemmuwa naye n’abaako kyafunye.

Nneekwata abantu abalina situudiyo z’ebifaanayi kubanga batera okufuna bakasitoma abaagala okubasiigira ebifaananyi. Bano bwe banfunirayo kasitoma bwe bansasula nabo mbaako kye mbawaayo. E Nyanama gye mbeera nafunayo mukwano gwange Hassan Jjuuko alina akaduuka era oluusi ebifaananyi bya bakasitoma we mbissa ate ne nteekawo n’ebyokutundibwa. Kale kinnyamba ne bwe mba ku ssomero oluusi nkolayo ku ssente.

Okwongera okugaziya ku katale kange nkozesa ne yintaneeti. Naggulawo “Facebook Page” eyitibwa 29 Arts kwe nteeka ebifaananyi by’ebintu bye nkola. Kuno nteekako n’endagiriro yange nga kyangu abisiimye okunkubira essimu ne nnyongera okumunnyonnyola.

BY’AFUNYE MU BIFAANANYI Nga nnaakatandika okusiiga ebifaananyi kyampa amaanyi kubanga nasobola okukuhhaanya emitwalo 60 omulundi gumu. Mu kusiiga ebifaananyi yasobola okufunamu ssente ne bakola ekibiina ne bayizi banne ne batandikawo bizinensi y’okutunda obukwata amataayi ku ssomero.

Bizinensi eno, baagitandika ne 35,000/-. Nfuna ssente mu bye nkola era sikyassa bazadde ku nninga kungulira ngoye ezimu n’obuntu obulala, ne kintaasa okwesigama ku bazadde bokka.

OKUSOOMOOZEBWA Obudde oluusi bumbula okubaako bye nkola ate nga ssente nzaagala. Nnina okusoma okuva ku Mmande okutuuka ku Lwomukaaga. Ekirala sirina baakusiigira bifaananyi ba kakakkalira. Bakasitoma ba lejjalejja. Ate nabo ebiseera ebimu balwawo okunona ebifaananyi byabwe n’okusasula ate nga mbeera mbisaasanyizzaako ssente

ENGERI KITAAWE WA SSENDAGIRE GYAWANIRIDDE EKITONE KY’OMWANA

Eric Mugisa Gitta, agamba nti ekitone ky’okusiiga ebifaananyi, kiri mu musaayi gw’abaana kuba ne bato ba Ssendagire bwe batyo.

Agamba nti Ssendagire yettaniranga okukuba ebifaananyi mu buto. Kino kyamuwaliriza okukubiriza mutabani we okukola essomo lya Art ku S.6. Nawalirizibwa okumuwagira nga mmuwa ssente okugula ebikozesebwa n’okumuyamba okumunoonyeza ku katale nga bw’asoma ayongere okunyiikira okuyiga.

Agattako, nti ayagala Ssendagire ne bw’anaamaliriza S.6, yeeyongereyo n’amasomo aganaatumbula ekitone kye kubanga yakitandikako dda ate akifunyemu ssente. Era gye bujja alina n’enteekateeka ezimuggulirawo ekifo eky’enkalakkalira mw’anaddukanyiza emirimu gye egy’okusiiga ebifaananyi, n’ebyemikono ebirala.

Mackay Memorial College e Nateete, nalyo litadde essira mu byemikono. Jane Sanyu, omusomesa w’abayizi bano yagambye nti, abayizi bye bakola, si byabwe kufunamu ssente wabula kusigala ku ssomero ne bongera okubagulira ebikozesebwa.

Cathy Mayambala, omusomesa w’e Gayaza Junior School agamba nti buli wiiki abayizi babangulwa mu byemikono emirundi ebiri ku Lwokusatu ne ku Lwokutaano. Bayigiriza abaana okutunga ekyalaani, ebitambaala, okuluka ebibbo, emikeeka ensawo n’ebirala. Mu kukola ebintu ebyo abayizi bayiga okuyiiya n’okussaayo omwoyo ku bintu bye bakola. Ne bw’akula amagezi ago gamuyamba.

Ebintu bye bakola abayizi babitwala awaka abazadde babirabe. Mu mbeera eno omuzadde aba alina okumugulira ebikozezebwa ayongere okukaza bye yayiga ku ssomero. OMUKUNGU Grace Baguma, dayirekita w’ekitongole ekitegeka ebisomesebwa, ekya “National Curriculum Development Center” agamba nti mu bulamu bw’omuntu, yeetaaga okuyiga ebintu ebisobola okumuyimirizaawo nga ye awatali kwesigama ku balala. Eno y’emu ku nsonga ez’esigamwaako okusomesa eby’emikono mu masomero.

Minisitule eraga nti abayizi balina okusoma okuva ku ssaawa 2:00 ez’oku makya okutuuka ku ssaawa 9:00 awo ne bazzaako ebyemikono okutuuka ku 10:00 wabula amasomero magi kino tebakikola ne bafiiriza abayizi. Omuyizi bwabaako ekyemikono kyamanyi ssente ne bwe zibula oluusi abaako kyakola nafunamu ku ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga