TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasuubuzi boogedde ku mutindo gwa Watermeroni ezirimwa wano

Abasuubuzi boogedde ku mutindo gwa Watermeroni ezirimwa wano

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2019

Abasuubuzi boogedde ku mutindo gwa Watermeroni ezirimwa wano

Mpo2 703x422

Abasuubuzi ba wootameroni mu butale obw’enjawulo beekokkola omutindo omubi abalimi mu Uganda kwe bafulumiza ebirime byabwe. Andrew Senkumba nga musuubuzi mu katale k’e kasubi agamba nti, kati mu kiseera kino bw’ogenda okusuubula wootameroni ezirimibwa abalimi ba wano bw’otoba mwegendereza oyinza okwejjuukiriza nga zonna zikusaze.

Ono agamba nti, meloni za wano za mutindo mubi bw’ozigeraageranya n’ezo eziva e kenya, kuba zivunda mangu oluusi tezibaamu sukaali endala zibaamu kiwotokwa.

Abalimi ba wano tebalabirira bulungi nnimiro zaabwe era kikosa ffe abasuubuzi kubanga kasitoma bw’agitwala nga teriimu sukaali oyo tadda ku mudaala gwo akuyita muyaaye kubanga otunda ebintu ebibi so nga ate bambi naawe oba totegedde nti wootameroni ze waleese ziba zirina obuzibu obwo.

Kizza kayemba agamba nti, oluusi meloni ezimu ziba nvudu ate nga kino tekirabikirawo ne bw’oba onoga ku musiri naye bw’oziteeka ku mmotoka okuzituusa ku mudaala ng’ezisinga zisogonyose so ng’ate obeera wazisasudde kyokka bw’ogula ekika kye kimu okuva e kenya zo ezaabwe tezisogonyoka.

Endala zibaako obutuli obutono nga bukuba amazzi buno buleetebwa obuvunyu obuziyingira nga meloni zikyali nto era bino byonna biba biraga omutindo omubi. Jackson Agaba nga mukugu mu byobulimi akola ne Mesh agro chemicals ltd agamba nti, ekintu ekisinga okutta omutindo gw’ebirime nga water melon ekisookera ddala bwe bugayaavu bw’abalimi ba wano.

Agamba nti, okusitula omutindo gwa wootameroni kitandikira ku lunaku lw’osalawo okizirima, olina okuteekateeka obulungi ennimiro yo ng’osooka kufuyiira ttaka eryo w’ogeda okusimba okusobola okutta obuwuka obuviirako okwonoona omutindo gwa meloni ng’ekuze.

Ng’otuuse okusimba weebuuze ku mukugu mu kutabula ebigimusa, abalimi bangi beewa olugezigezi ne bakola bye baagala, ebintu by’eddagala tebiriiko kuteebereza buli bw’ofuuyira eddagala eriteetaagisa ku kirime oba okola nsobi era y’ensonga lwaki omuntu agamba nti, wootameloni zange teziriimu sukaali aba alina okuba nga yakozesa eddagala nga teryetaagisa oba nga lingi naddala ekigimusa.

Agaba agamba nti, okulima wootameroni olina kukimanya nti olina amazzi agamala kubanga kirime ekyeetaga amazzi amangi okusobola okufulumya eziri ku mutindo ate olina okufuuyira buli luvannyuma lwa nnaku musanvu kino kiyamba okutta obuwuka obuziviirako okuvunda.

Omulimi alina n’okumanya omugaso gw’eddagala ly’agenda okufuuyira ku melon ze kubanga waliwo ebika eby’enjawulo by’oyinza okukozeza ng’olowooza nti buli kirina omulimu gwa njawulo so nga bikola omulimu gwe gumu naye nga byawula mannya noolwekyo abalimi balina okwebuuza ku bakugu bwe bakola ebyo byonna omutindo gw’ebirime, byabwe nga ne water meloni mwogitwalidde gujja kulinnya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.