TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. etadde amaanyi mu by’etteeka ly’ennima y’obutonde

Gavt. etadde amaanyi mu by’etteeka ly’ennima y’obutonde

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2019

Gavt. etadde amaanyi mu by’etteeka ly’ennima y’obutonde

Lip2 703x422

OluvanNyuma lw’olukiiko lwa baminisita okuyisa etteeka n’enkola gavumenti mw’egenda okuyita okulondoola n’okulambika ennima y’obutonde eya “organic farming’’ minisitule y’ebyobulimi, obulunzi n’ebyenyanja n’obuvubi etandise okulambula abalimi mu byalo okukakasa oba ddala abalimi aboogerwako balima mu nnima ey’obutonde ddala gyebali.

Abakungu okuva mu minisitule nga bakulembeddwaamu kaminsona avunaanyizibwa ku mutindo gw’ebimera, Steven Byantwale Tibejuka nga bali wamu n’ebitongole bye bakolagana nabyo omuli ekya PELAM Uganda ekirwanirira obutonde bwensi ne NOGAM ekigatta ebibiina ebirwanirira obutonde bwensi okuyita mu nnima ey’obutonde awamu ne Afird balambudde abalimi mu ggombolola y’e Busaana mu disitulikiti y’e Kayunga.

Byantwale yategeezezza nti, etteeka erifuga ennima y’obutonde libadde lyatuuka dda mu Kabineti kyokka nga tewabadde bukakafu bulaga nti mu Uganda mulimu abalimi abannamaddala abalima mu nkola eno kyokka bwe twalambula amakolero agakola eddagala ly’obutonde ng’abalimi baffe wano be balikozesa ne tulambula n’abasuubuzi abatwala ebweru ebirime ebirimibwa mu nnima ey’obutonde olwo baminisita n’olukiiko lwa kabinenti ne lukakasa nti ddala wasaana okubeerawo amateeeka okuluhhamya ennima eno ate n’okuyamba ku balimi baffe kubanga babadde bayita mu misoso mingi okutwala ebirime ebyo ebweru kubanga tetubadde na tteeka eryo.

Ono ayongeddeko nti, okusinziira ku balimi be tulambudde twalwawo n’okukola ku nsonga eno era mbadde simanyi nti waliwo abalimi aba ‘Organic mu Uganda nga b’amaanyi nga ono.

Yagambye nti, agenda kunnyonnyola bakama be bongere amaanyi ku kuteeka mu nkola ebyo ebyasaliddwaawo ate n’okulaba ng’abalimi abalima mu ngeri ey’obutonde batandika okulowoozebwako mu ngeri ey’enjawulo kubanga wadde balimi naye ennima yaabwe eyawukana ku balimi abaabulijjo era beetaaga obuyambi bwa gavumenti mu bye nsimbi ne mu mbeera endala.

Godfrey Omuruga owa PERAM Uganda mu kiseera kino ng’obutonde bw’ensi butaaguddwa gavumenti esaana okwongera amaanyi mu mirimu egikolebwa okutaakiriza ebyo byetusigaza kubanga ensi yonna kigibeerera kizibu okulaakulana ng’obutonde bw’ensi busanyiziddwaawo ate ne bwe ziba ssente ezikozesebwa okuzawo ebyonoonese ziba nnyingi.

Yayongeddeko nti, gavumenti okuyisa etteeka ly’ennima ey’obutonde kigenda kuyambako abalimi okwenyigira mu nnima ey’obutonde n’abo ababadde babukola nga teri abakwatizaako. gavumenti ng’eyita mu tteeka lino kati yaakutandika okubayamba era ennima ey’obutonde egenda kweyongera okukulaakulana.

Tumaze ebbanga nga tulwanirira okulaba nga liyisibwa kyokka ng’abakulu mu gavumenti batunyooma nga tebakakasa nti mu Uganda waliwo abalimi abalima mu ngeri y’obutonde abamaanyi naye okuva abakungu lwe beesitula ne balaba amakolerero g’eddagala ery’obutonde n’abasuubuzi abatwala ebirime bino ebweru baamatira era y’ensonga lwaki basobodde okuyisa etteeka lino naye era babadde bakyalimu okuwakana kye tuva tusazeewo okubalambuza kuba ku balimi abalima mu nnima ey’obutonde nga tusookedde mu disitulikiti y’e Kayunga ku kyalo Bumaali ku ffaamu ya Vincent Sonko omulimi w’ennaanaansi era nga ziri ku yiika 39 n’amatooke agali ku yiika 27.

Ono tafuuyira wabula akozesa bijimusa bya butonde n’eddagala ery’obutonde. Sonko agamba nti, ebirime bye ababigula babitwala bweru era nga birina akatale.

Agamba nti, wabula okusoomoozebwa kuli mu misoso gy’ayitamu okutunda ebirime bye nga yeetaaga layisinsi ekakasa nti ddala gavumenti emumanyi nti mulimi alima mu nnima ey’obutonde kyokka nga gavumenti ebadde terina tteeka lirambika nnima eno era tubadde nga tweyambisa layisinsi z’e kenya okutambuza ebirime byaffe naye nga kitwala obudde bungi ate ne ssente nnyingi naye ketwafunye etteeka eritulambika tweyongedde amaanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....