Omuyimbi Douglas Mayanja amanyiddwa nga Weasel Manizo owa Goodlyfe essanyu ly’alina likirako lya mwoki wa gonja. Bamuzaalidde eddenzi ne yewaana nti okuzaala kujagaana.
Weasel tatudde, yakutte ekifaananyi kya Maama ne bbebi n’akissa ku mukutu gwa Facebook n’akulisa mukyala we Talia Kassim okumuzaalira omwana.

Ono mwana we wa kubiri mu Talia era olw'essanyu amutuumye Emmanuel Mayanja okumubbula mu muto we omugenzi AK47 eyaali ayitibwa Emmanuel Mayanja.
Amugasse ku baana be abalala balina okuli n’owa Samira Tumi gwe yayawuukana naye gye buvuddeko nga amaze okumuzaalamu era yakyala ne mu bazadde be e Jinja.

Ate Talia wazaalidde nga Weseal alina muninkini we omulala Sandra Teta enzalwa y’e Rwanda ennaku zino gw'apepeeya naye ate nga n'ono kigambibwa ali lubuto .
Abantu olwalabye obubaka bwa Weasel ne batandikirawo okumubalira abaana bakira abamu bawandiika nti anyiikiridde omulanga gwa Nadduli abalala nti awezezza 20 buli bamaama ab'enjawulo abalala nti ali mu 30.