TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kasirye Gwanga alidde matereke n'abasaawa ebibira e Mityana

Kasirye Gwanga alidde matereke n'abasaawa ebibira e Mityana

By Joseph Mutebi

Added 12th August 2019

Kasirye Gwanga alidde matereke n'abasaawa ebibira e Mityana

Kas1 703x422

Kasirye Ggwanga ng'annyonnyola

MUNNAMAGYE Maj Gen Kasirye Ggwanga  atabukidde abasalamala  beyasanze battise embaawo ku loole ng’ebooze emmotoka nagikuba amasasi.

“ Nze nga  Munnamagye omutendeke, eyasoma era amanyi obulungi obuli mu kulwanirira eddembe ly’ebibira n’omugaso gwabyo era taata wa Bannamityana ne Mubende  abatulugunyizibwa abagwiIra abatazaalibwa mu bitundu bino siyinza kukkiriza  jjoogo lino kugenda mu maaso nga ndaba” bwatyo Kasirye ggwanga bweyategeezezza Bukedde ku ssimu.

Yayongeddeko nti abo abazannya bakimanye nti ebitundu by’eggwanga ebisinga mu kiseera kino enzizzi zakalira lwa kutema bibira kati amazzi abaana n’abakyala bagakima ku nnyanja ekintu ekikalubiriza obulamu bwabwe.

“Ndayira mu mazima ga Katonda mu ggulu siyinza kukkiriza Bakiga kuva Kabaale ne bajja okusanyawo ebibira byaffe  e Mityana nga nsobola  okubirwanirira ne ntunnula kubanga balina okukimanyi nti eno Buganda tebalina kugifula kizannyiro” Bwatyo Kasirye Ggwanga bweyakkatirizza.

Yayongeddeko nti njagala okubakakasa nti ayagala okumpawaabira ng’alowooza waliwo omusango gwe nakoze agende mu kkooti olwokuba Kasirye Ggwanga alwanirira ebibira obutabisanyawo. Kubanga lino bwe litaba jjoogo lye nnyini  kuba kumaanyira kuba oyinza otya okugamba nti wapangisa ku ttaka lya Buganda eritunda nga kkeeke eyokya.

Ku 35,000/- buli yiika, gwe n’otandika okusanyawo ebibira byaffe emiti gy’osanzemu egimaze emyaka egisukka mu 50, n’osaala embawo n’omala n’osimbamu kalitunsi ate naye bwatuuka okumusaala n’oleeta Bakiga bano okuva e Kabaale abaana baffe ab’e Mityana n’obama emirimu.

Kasiye ggwanga yagambye nti ekisinga okumuluma abasajja bano baabajooga ne basala ebibira byabwe ate ne bamala ne bayonoona n’amakubo mwe bayisa emmotoka z’embawo nga abaana enzaalwa tebalina kye bafunyemu olwo bo ne baddayo ewaabwe ne bazimba abayumba agatemagana n’okugula emmotoka azitemya ng'omuntu.

  “Okumanya abasajja bano bamanyira bwe bamala okusawa ebibira byaffe abaana b’omu kitundu ne besimbira ku kasooli ne bijanjalo bwe batabisaawa babirya ku mpaka. Ng’olwo ani ayinza okukkiriza efuga bbi lino” bwatyo Maj Gen Ggwanga bweyategeezezza.

Maj Gen Kasirye Ggwanga yagambye nti ayagala okumanya nga bwenfaanana agende ku kyalo “Nkene” gye nkubye enkambi e Mityana wasinzira okukola ekikwekweto “Mukomye ejjoogo” okusobola okutaasa abonoona ebibira byaffe  bakiveeko baddeyo ewaabwe. Eno gye tugya okwogereera  olulimi buli omu lwasinga okutegera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...

Kaweesitdweb 220x290

Abavunaanibwa okutta Kaweesi beeyanjudde...

Nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates beeyanjudde mu...

Katwe3web 220x290

Aba Ghetto beegaanye Butchaman...

Kawooya yagambye nti ku lunaku Museveni lwe yali e Katwe, abavubuka b’omu Ghetto e Katwe tebaayitibwa newankubadde...