TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyayingidde mu duuka ne banne nga befudde abaguzi asimatuse abasuubuzi

Eyayingidde mu duuka ne banne nga befudde abaguzi asimatuse abasuubuzi

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2019

Eyayingidde mu duuka ne banne nga befudde abaguzi asimatuse abasuubuzi

Lop1 703x422

ABAKUUMI abakolera ku kizimbe kya Park View mu Kampala bataasizza omuvubuka agambibwa okwekobaana ne banne ne babba ebintu mu dduuka gye baagenze nga beefudde abaguzi.

Abavubuka basatu baagenze ku dduuka lya Charles Luzige nga beefudde abaliko bye bagula wabula ababiri ku bbo ne babba essimu bbiri ne babbulawo oluvannyuma lw’okubuzaabuza omukozi mu dduuka lino.

Luzige yagambye nti, abavubuka bano baasanze omukozi mu dduuka ne beefuula bakasitooma abaagala okugula obukuufu bw’omu bulago wabula ababiri ku bbo ne balabirizza atunda ne babba essimu.

Samuel Kamugisha  abasuubuzi baasobodde okumukwata ne batandika okumugajambula. Abakuumi b’ekizimbe baayanguye okutuuka ne bataasa omuvubuka gwe baabadde baagala okugajambula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...