TOP

‘Luggya Lwasi afudde agasizza eggwanga

By Musasi wa Bukedde

Added 13th August 2019

‘Luggya Lwasi afudde agasizza eggwanga

Got2 703x422

ABALABIRIZI abenjawulo basiimye emirimu omugenzi Ezekiel Luggya Lwasi gy’akoledde Ekkanisa n’eggwanga lyonna okutwaliza awamu ne bagamba nti agasizza eggwanga. Kwe kusaba n’abalala bamuyigireko.

Mu bye banokoddeyo by’akoze mwe muli omulimu gw’okuzimba ‘Museum’ ku kiggwa ky’abajulizi Abakristaayo e Namugongo. Bino byabadde mu kusaba okwategekeddwa mu kkanisa ya St. John’s e Kawuku mw’abadde asinziza era ne beebaza Katonda olw’emirimu emirungi gy’amukozesezza.

Okusaba kuno kwetabiddwaako abaweereza abenjawulo okwabadde Rt. Rev Wilberforce Kityo Luwalira ow’e Namirembe, Rt. Rev Evans Kisekka eyali ow’e Luweero, Rt. Rev Steven Kazimba Mugalu ow’e Mityana, Rt. Rev Dunsan Bukenya ow’e Mityana eyawummula, Rt. Rev Henry Katumba Tamale owa West Buganda, Rt. Rev Jackson Matovu owa Central Buganda eyawummula, Rt. Rev James William Ssebaggala omulabirizi w’e Mukonom abasumba bangi, ababuulizi awamu n’Abakristaayo.

Omulabirizi Luwalira yakuutidde abantu okunywerera ku Katonda, okubeera n’okwagala n’okukola ennyo ng’omugenzi bw’abadde akola okutuusa okufa. Yamwogeddeko ng’abadde omusajja alina okwagaala ate nga muwabuzi mulungi era abadde amuwabula mu buli nsonga yonna.

Yagambye nti bwe baali bagenda okutandika omulimu gw’okuddaabiriza Namugongo nga bali wamu ne Ssabalabirizi omugenzi Dr. Livingstone Nkoyoyo, baasooka kumwebuuzaako wabula amwebaza kubanga omulimu guno baagutambuza ne Ssaabalabirizi; bwe yafa ye yasigala akolera ekkanisa.

ABADDE MUWABUZI Bp. Katumba Tamale yamwogeddeko ng’eyamwagala ennyo era nga yamutumanga okubuulira enjiri mu makanisa ne bwe yali nga tannafuuka mulabirizi wa West Buganda. Ono yagambye nti abadde musajja muzadde ng’amubuulirira era ng’amuwabula ate ng’amwagaliza okubeera obulungi.

Bp. Jackson Matovu owa Central Buganda eyawummula ate nga ye ssentebe w’olukiiko oluzimba Namugongo yamwogeddeko ng’abadde omumyuka we nga musajja wa magezi nnyo. Yamwebazezza okukuuma ekiruubirirwa ky’omugenzi Dr. Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo eky’okuddaabiriza Namugongo era nga y’abadde amuyambako okutegeeza abantu buli ekirina okukolebwa.

Rt. Rev Steven Kazimba Mugalu yamwogeddeko ng’abadde omusajja omuntumulamu era nga yamuyamba mu kuteekateeka okulamaga kw’e Namugongo omwaka guno ate ng’abadde muwabuzi .

Bp. Evans Kisekka ow’e Luweero eyawummula yagambye nti omugenzi babadde baamukwano nnyo nga baddukanyiza wamu emirimu gy’ekkanisa era afiiriddwa mukwano gwe gw’atasobola kuzzaawo. Rt. Rev Dunsan Bukenya yategeezezza nti omugenzi ye yasooka okubeera ssentebe wa Church House okutuusa bwe baateekako ssentebe omulala.

BAZE ABADDE MUKOZI - NNAMWANDU Miriam Luggya Lwasi, nnamwandu amwogeddeko ng’abadde n’omukwano omungi ate nga y’abadde amujjanjaba. Yagambye nti abadde ayagala nnyo okukola, nga tawummula ng’agonberera ehhombo ya taata we omugenzi Rev. Eriazaali Lwasi nti ‘Bw’otookikole ani anaakikola?’

Ate bo abaana baamwogeddeko ng’abadde taata omulungi ng’abayigiriza okukola n’okwagaala ekkanisa. Fr. Joseph Muwonge Mukasa, eyakiikiridde Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga era nga ye ssentebe w’ekiggwa ky’abajulizi eky’Abakatoliki e Namugongo yamwogeddeko ng’abadde omusajja omumalirivu ate ng’ayagala Katonda.

Omugenzi agenda kuziikibwa olwaleero (Lwakubiri) e Nakaseeta mu Mpigi ku ssaawa 8:00 ez’emisana.

EBYAFAAYO BY’OMUGENZI l Yazaalibwa omugenzi Rev. Eriazaali Buzaabo Lwasi ne maama Zewuliya Nansamba Lwasi. l Abadde musajja muzadde ng’abadde alina abaana bataano okuli Jannet Kayongo, Nnaalongo Gladys, Dorothy Naluggya Golooba, Ronald Samuel Lutalo Lwasi, Elizabeth Faith Lwasi Mugisa Mukeeri.

Oku soma kwe Yatandikira mu Namirembe Kayanja Primary School, Bishop Senior Secondary School Mukono, Mengo Secondary School, Bishop Willis Teachers Training College Iganga, Makerere University gye yafunira diguli mu busomesa. Yaliko heedimasita wa Nakyesanja P/S, Naguru Katale P/S, Arya P/S, Police Childen School, n’emirimu emirala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...