TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti eragidde Gavumenti okuleeta obujulizi ku Bobi

Kkooti eragidde Gavumenti okuleeta obujulizi ku Bobi

By Musasi wa Bukedde

Added 13th August 2019

Kkooti eragidde Gavumenti okuleeta obujulizi ku Bobi

Kip2 703x422

Bobi Wine ( ku ddyo) ng’ayogerako eri bannamawulire.

KKOOTI ya Buganda Road eragidde oludda oluwaabi mu musango gw’omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okuleeta abajulizi abagenda okumulumiriza nga bw’ataagondera mateeka n’akuba olukuhhaana ng’awakkanya omusolo gw’essimu ogwa OTT.

Eggulo Bobi Wine ne banne bwe bavunaanibwa okuli; mukulu we Fred Nyanzi, Julius Katongole, David Lule ne Edward Ssebuufu (Eddy Mutwe) baakedde ku kkooti nga basuubira nti omusango gwabwe gugenda kutandika okuwulirwa naye oludda oluwaabi bwe lwasituse okwogera ne lutegeeza nti lwabadde teruleese bajulizi.

Baabadde bawerekeddwaako abawagizi baabwe naye baatudde mu kkooti nga toyinza okuwulirayo kanyego konna ng’embeera bwe yali mu omusango gwa Dr. Stella Nyanzi. Barbra Kyomugisha yategeezezza Omulamuzi Ketty Joan Acaa nti teyasobodde kuleeta bajulizi kubanga yabadde takakkasa nti abavunaanibwa bonna banaabawo.

Yagaseeko nti omwezi oguwedde mu July yaleeta a bajulizi kyokka tewali kyagenda mu maaso kubanga Bobi Wine teyaliiwo mu kkooti olw’okuba yali agenze ku mirimu emitongole.

Wabula balooya ba Bobi okwabadde Luyimbazi Nalukoola, Shamim Malende ne Benjamin Katana baategeezezza Omulamuzi nti bo beetegefu okutandika okuwulira obujulizi oludda oluwaabi lwe bulina olunnaku lwonna. Wano Omulamuzi we yasinzidde okulagira oludda oluwaabi okuleeta abajulizi nga September 17, 2019 omusango guno gutandike okuwulirwa.

Bobi yaggulwako omusango guno nga kigambibwa nti yagyemeera amateeka bwe yakuba olukuhhana mu kibuga wakati ( City Square) bwe yali yeekalakaasa olw’omusolo gw’essimu (OTT) ogwatongozebwa.

Okwekalakaasa kuno kwaliwo nga July 11, 2018 ng’oludda oluwaabi lugamba nti Bobi Wine yalemererwa okukolagana ne poliisi okulaba nga abagenda okwetaba mu lukuhhaana tebalina mmundu.

Ye Bobi oluvannyuma lwa kkooti yategeezezza nti mwetegefu okuwulira obujulizi bwe bamulinako kubanga akimanyi emisango egyamuggulwako gya byabufuzi era bagaala kugikozesa kumulemesa kuvuganya ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2019

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191122at145535 220x290

Amataba gasazeeko enkulungo y'oku...

Enkuba efudembye mu Kampala n'emiraano mu budde bw'amalya g'ekyemisana egootaanyizza entambula ku nkulungo y'oku...

Mosesmagogo 220x290

Ebya Moses Magogo bibi!

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’Ebyemizannyo, Janet Kataha Museveni ayingidde mu nsonga za Pulezidenti wa FUFA, Ying....

Klezia etegese okusabira Novena...

NGA Uganda yeetegekera okukuza olunaku lwa siriimu olukuzibwa mu nsi yonna nga December 1, Klezia etegese Novena...

Film1 220x290

Embooko z’abawala ezongedde ebbugumu...

Endabika y’abawala bano (okuba abalungi mu ffeesi) n’okuba ne ffiga ennungi tebikomye ku kubatunda nga bbo mu bantu,...

Nnasale 220x290

Omusomesa wa King Fahad asobezza...

POLIISI ekutte omusomesa w’essomero lya King Fahad Islamic Primary School e Nateete nga kigambibwa nti yasobezza...