TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaalabikira mu kkamera nga batema omugagga babakutte

Abaalabikira mu kkamera nga batema omugagga babakutte

By Musasi wa Bukedde

Added 13th August 2019

Abaalabikira mu kkamera nga batema omugagga babakutte

Lip1 703x422

Mabango eyakulembera abatemu ng’ali ku mpingu.

POLIISI ng’ekozesa obujulizi bwa kkamera, ekutte abavubuka 10 abagambibwa okulumba omuvuzi w’emmotoka ne bamutema n’okumubbako ebintu by’omu nnyumba. Bright Kaliisa 34, ow’e Luvuuma zooni mu munisipaali y’e Makindye yalumbibwa abatemu mu kiro kya July 29, 2019 bwe yali yaakakomawo ewaka.

Yali yaakasimba mmotoka ye ekika kya Super Custom, ne bava emabbali g’ekkubo nga bakutte amajambiya ne bamutemaatema nga bwe bamusaba ssente. Baamuggyako ebisumuluzo by’ennyumba n’eby’emmotoka ne bayingira ennyumba ne baggyamu ttivvi ennene n’ebintu ebirala ne badduka.

Ssente ze yalina yazikasuka mu lusuku ne ziwona. Bino baabikola kkamera eziri ku nnyumba zibalaba omwali n’omuvubuka Joseph Bakka amanyiddwa nga ‘Mabango’ eyakwatibwa ku katambi ng’agamba banne nti temumutta nze mmumanyi. Banne olwawulira kino ne beesega mpola ne baleka Kaliisa mu bulumi.

Poliisi okukwata bano yasoose kulaba katambi akaakwatibwa era olwakeetegerezza ne bakizuula nga bangi bamanyiddwa. Poliisi yazinzeeko bbaala emanyiddwa nga ‘ewa Kiiwa’ okumpi n’enkambi y’amagye ku Lwokutaano mwe baakwatidde Mabango ne banne nga beebase emisana. Aba bodaboda baakuηηaanye nga balowooza bakwata bakubi ba buyondo ekyawalirizza poliisi okukuba amasasi mu bbanga okubagumbulula.

Abasibe oluvannyuma baatwaliddwa ku poliisi e Katwe. Mabango yatutte poliisi e Kasubi n’abalaga ekifo gye yakweka ekiso kye yakozesa okutema Kaliisa. Mabango yakwatiddwa ne banne okuli:

Robert Wasswa, Muhammad Jumba, Edson Atuhairwe, Patrick Kiyingi, Kisambu Maite, Gerald Mbusa, Alpha Bukenya, Alex Shaleh , Paul Matovu ne Ssemafuka. Kyokka waliwo n’omuvubuka alabikira mu katambi ng’alina enviiri ezirimu tinti ng’atema akyanoonyezebwa. Poliisi yabagguddeko omusango gw’obutemu oguli ku fayiro CRB 122/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye

Lop1 220x290

Ebya Museveni ne Kagame bireka...

Ebya Museveni ne Kagame bireka wa basajja ba Kayihura

Hit1 220x290

Aba Bobi Wine baddizza Otafire...

Aba Bobi Wine baddizza Otafire omuliro

Lab1 220x290

Micheal Muhumuza amanyiddwa nga...

Micheal Muhumuza amanyiddwa nga Ssuula Mpya akubirizza abazadde okuweerera abaana

Dot1 220x290

Ab’e Kakuuto basse omukago n’Abatanzania...

Ab’e Kakuuto basse omukago n’Abatanzania okwekulaakulanyaBa