TOP

Babakutte bawandiika abaazirwanako ab’empewo

By Musasi wa Bukedde

Added 13th August 2019

Babakutte bawandiika abaazirwanako ab’empewo

Sab2 703x422

ABEEBYOKWERINDA bagudde mu lukwe lw’abajaasi olw’okubba ssente z’abaazirwanako eziri eyo mu buwumbi ne bakwatako babiri. Kigambibwa nti babadde bakolagana n’abamu ku banene mu minisitule y’ebyokwerinda n’ensonga z’abaazirwanako gattako abantu ba bulijjo.

ISO ye yakutte abantu bano okuli John Kato Kasule 45, omutuuze w’e Kabojja mu Kyengera ne Sgt. Patrick Mwondah akolera mu tterekero ly’ebiwandiiko by’amagye mu nkambi e Bombo.

Kasule yakwatiddwa ku Lwokusatu e Kakiri mu Wakiso ate Mwondah baamukwatidde Moroto gye yabadde agenze okuwandiika abantu abalala. Kasule yakkirizza nti babadde bawandiika abantu ba bulijjo nga babafudde abaazirwanako abagenda okusasulwa. Yagambye nti, okusisinkana Mwondah, yali awerekeddeko mukwano gwe, Sulait Ssenkaali eyali agoba ku by’akasiimo ka muganda we eyafa mu 2016.

Yagambye nti, baabakwasa Mwondah okukola ku nsonga zaabwe n’abasaba 200,000/- era fayiro n’agifuna ne basasulwa. Agattako nti, baawanyisiganya ennamba z’essimu era mu 2018 Mwondah yamukubira n’amutegeeza nti waliwo ensonga z’ayagala okumuyitiramu.

Bwe baasisinkana, kigambibwa nti Mwondah yamugamba nga bw’ayagala amuyambeko okunoonya abaazirwanako abaagala okubasasula kyokka ye ensonga n’asooka azigaana olw’obutaba na budde.

Agamba nti, yatuukirira mukwano gwe Micheal Kajoba ow’e Kayunga mu Wakiso n’amuyititamu era Kajoba n’akkiriza okunoonya abantu abo. Kasule agamba nti, teyasooka kumanya nti Mwondah ayagala kuwandiika baazirwanako ab’empewo wabula oluvannyuma yakitegeera.

Kajoba yafuna abantu abalala basatu; Emmanuel Kafeero Lukaga ow’e Kakiri, Vincent ssuuna ow’e Wakiso ne John William Ssebbaale ow’e Gombe bamuyambeko okuwandiika abantu.

Yagaseeko nti, bwe baamala okuwandiika abantu, Mwondah yaleeta yunifoomu y’amagye n’agyambaza abantu be baali bawandiise nga bw’abakuba obufaananyi ng’akozesa essimu oluvannyuma n’abakolera ebiwandiiko ebiraga nti baaliko mu magye. Ku mpapula ze twalabyeko, yabateereddeko ebitiibwa by’amagye n’abawa ennamba z’amagye n’abateerako n’emyaka gye baamala mu magye.

Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda yagambye nti, Mwondah n’ekibinja kye babadde baakawandiika abantu ba bulijjo abasoba mu 100 mu Wakiso mwokka n’agamba nti balina amawulire nti ekibinja kibadde kiwandiika mu ggwanga lyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye