TOP

Abavuzi ba takisi ne bodaboda basiimye Bukedde

By Musasi wa Bukedde

Added 13th August 2019

Abavuzi ba takisi ne bodaboda basiimye Bukedde

Lab1 703x422

ABAVUZI ba takisi ne bodaboda basiimye olupapula lwa Bukedde olw’okufulumya amawulire agabayambye okukyusa n’okukulaakulanya obulamu bwabwe. Emyaka 25 Bukedde gy’emaze bagamba nti tebalekeredde kuba bazze batambulira wamu ng’efulumya amawulire agabalwanirira ng’eggyayo ensonga ezibanyiga n’okwanika ababatulugunya.

Musitapha Mayambala, akulira ekibiina ky’abagoba ba takisi abeegattira mu kibiina kya ULTRADA yagambye nti mumativu nti olupapula lwa Bukedde lwa muntu waabulijjo olw’engeri abasasi n’abaluddukanya gye batambulamu n’omuntu waabulijjo obutamuleka mabega.

Bukedde asobodde okubatuusaako agafa ku bidduka mwe bamanyira ebikwata ku mmotoka ze bavuga ezaabuli kika ng’eyita mu muko gwayo ogufuluma buli Lwakuna. “Bukedde bwe yali tannaba kujja, ffe eby’amawulire abasinga twali tulaba birabe kuba waaliwo ga Lungereza.

Kyokka bwe yajja n’atugondezaamu ensonga era mu kiseera kino amawulire gonna tugafunirawo,” Mayambala bwe yagambye. Olupapula lwa Bukedde okutandika, Mayambala agamba nti yali akola bwa kondakita mu ppaaka enkadde nga bavuga ze Kampala, Mengo, Nabulagala.

Ajjukira okuwandiika ebbaluwa nga yeemulugunya ku ngeri UTODA gye yali ebatulugunya era n’efulumizibwa. Abakuhhaanya ba Bukedde baasindika abasasi ne bajja mu ppaaka ne balondoola ekizibu kino ne bakizuula nga ddala waaliwo okutuugunya era emboozi ne zifulumizibwa. Ajjukira Bukedde lwe yafulumya katuuni ng’eraga abasajja ba UTODA nga bagezze embuto zikoma kuli ate ng’abagoba b’ebidduka embuto zibali ku migongo n’essaati z’ebituli.

Mayambala agattako nti Bukedde takomye awo wokka naye olw’okuba ebyentambula bikwata ku bantu abaabuli kika omuli abasaabaze, abasuubuzi, buli kintu ekizze kitutuukako mu mulimu gwaffe Bukedde abadde atambulira wamu nabo. Yanokoddeyo ekitongole kya KCCA lwe kyabalumba ne kikwata baddereeva abasoba mu 50 nekibaggalira e Luzira.

Bukedde yalondoola ensonga ezo era n’efulumya ebikwata ku bagoba ba takisi abo ne noonya ne famire zaabwe gyeziri n’eraga embeera n’okunyigirizibwa okwaliwo okukakka nga KCCA ekkirizza okukwatagana nabo era baayimbulwa mbagirawo.

Muhammad Kawooya omwogezi wekibiina ekigatta abavuzi ba takisi okuva mu paaka ya Usafi agamba nti Bukedde amuyozaayoza olwokuweza emyaka 25 kuba abadde atambulira wamu nensonga eziruma bannakampala naddala abali mu gw’okusaabaza abantu. Yagambye nti KCCA bwe yateekawo omusolo ogwobuwaze ogw’emitwalo 12 buli mwezi, baaguwakanya nnyo nti gugenda kubanyigiriza.

Bukedde yabalwanirira nnyo ng’ebawa omukisa okuyisaamu okwemulugunya kwabwe era gye byaggweera nga Pulezidenti aguyimirizza. Moses Jemba avuga bodaboda yagambye nti ekiseera abasajja ba Kitatta n’akabinja ka bodaboda 2010 we batulugunya abantu, Bukedde yayimirira nabo okutuusiza ddala bwe baakwatibwa n’abamu ne basingisibwa emisango. Bukedde abaddewo nnyo era n’ayanika buli kafankunaali eyeetobese mu mulimu gwabwe n’okwanika ababbi abakuba banbannaabwe ennyondo.

Omulimu ogwali gulabibwa ngo ogwa bataasoma mu kiseera kino basobola okwogera ensonga eggwanga lyonna ne liwulira. Stanley Lubwama yagambye nti Bukedde yeeraze nti alumirirwa omuntu waabulijjo kuba buli munnaabwe lwafuna obuzibu banguwako okutegeeza ensi.

Tebakomye awo wabula balondodde n’okuzuula abatemu era emirundi mingi bakwatiddwa. Emirundi mingi paaka zaffe KCCA ng’ekolagana n’abanene baagadde okuzisaanyaawo bazimbewo ebizimbe naye Bukedde ebadde esitukiramu ne tusobola okuggusa edoboozi lyaffe era nkakansa nti paaka naddala enkadde eriwo lwa Bukedde efubyeokulondoola ensonga ezigikwatako.

Olupapula yalwagalizza obuwangaazi, kuba lubeerewo n’abazzukulu balusange kuba lulumirirwa omuntu waabulijjo ate lulimu ebiyigiriza bingi ddala kuba luwandiikibwa mu lulimi buli omu lw’ategeera kumpi okwetooloola eggwanga lyonna. Ate ng’oggyeeko ebyo, Bukedde atulaze enkola ya ssente mu Kampala ng’eyita mumiko gyaayo mwe wandiika ebyobusuubuzi nga ‘Yiiya Ssente’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi y’e Njeru ekutte ekibinja...

Poliisi y’e Njeru ekutte ekibinja ky’abagambibwa okubbisa emmundu

Kit2 220x290

Yaaya afumise gw’ayagalira omusajja...

Yaaya afumise gw’ayagalira omusajja n’amutta

Get2 220x290

Engeri aba Middle East gye baferamu...

Engeri aba Middle East gye baferamu abantu

Mid2 220x290

Eby'okukwata owa Middle East ku...

Eby'okukwata owa Middle East ku by'okufera abantu biranze

Hit2 220x290

Eby'okwerinda binywezeddwa mu KCCA...

Eby'okwerinda binywezeddwa mu KCCA