TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olukiiko olutaba enzikiriza lugenda kutalaaga eggwanga

Olukiiko olutaba enzikiriza lugenda kutalaaga eggwanga

By Ponsiano Nsimbi

Added 13th August 2019

OLUKIIKO olutaba enzikiriza ez’enjawulo mu ggwanga olwa Inter-Religious Council lwa kutalaaga eggwanga lyonna nga lwebuuza ku Bannayuganda ku nsonga ez’enjawulo ezibanyigiriza.

201212largeimg224dec2012160347990703422 703x422

Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga

Bino byayogeddwa Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga ku Lwomukaaga bwe yabadde akulembeddemu mmisa mwe yaweeredde Abadyankoni 15 Obusossodooti n’Abaseminaaliyo 12 Obudyankoni mu lutikko e Lubaga.

Dr.Lwanga yasabye abantu okubuulira bammemba b’olukiiko luno amazima bwe banaaba babatuuseeko kibayambe okutuusa ebirowoozo byabwe ku bakulembeze b’eggwanga basobole okubinogera eddagala.

Yavumiridde ebikolwa eby’ettemu ebyeyongera buli lukya, obutabanguko mu maka, obwavu obuyitiridde era n’asaba buli omu okusabira emirembe mu ggwanga.

Yakubirizza abaaweereddwa obusossodooti n’obudyankoni okuba abamalirivu n’okukuuma ebiragaano bye baakubye naddala obutawasa nga babeera ekyokulabirako ekirungi eri abalala.

Yagambye nti okuweereza kuno kubeera kuyitibwa, nga buli omu kimukakatako okujjukiranga by’alagaanyiza Omukama n’okusigala nga mwesigwa mu buweereza. ‘‘Obusossodooti linnya kkulu nnyo era ababufuna bafuuka ndabirwamu ya Yezu Kristu’’ Dr. Lwanga bwe yategeezezza.

Yabawadde amagezi okwegayiriranga buli lunaku kibayambe okwongera okunywera, okubeera ab’ekisa eri abantu be baweeereza nga babatuusaako ekisa kya Katonda n’okwewala okukola ebireetera abalala ennaku ssaako okujjumbira essaakalamentu ya Penetensia.

Ssaabasumba yasabye Abakristu okwagala abasossodooti baabwe, okubabuulirira nga basobezza, okubassaamu ekitiibwa n’obutabawabya.

Abazadde b’Abadyankoni n’Abaseminaaliyo baasoose kubawaayo eri Ssaabasumba bamuweereze awamu n’Eklezia, oluvannyuma bano baalayidde kinnoomu mu maaso g’Omusumba nga bwe beetegese okuweereza Omukama obulamu bwabwe bonna. Oluvannyuma, Dr. Lwanga yakulembeddemu banne okukola emikolo egy’enjawulo ng’atongoza abagole bano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye