TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mutabani wa Kayiira avudde mu DP ne yeegatta ku NRM

Mutabani wa Kayiira avudde mu DP ne yeegatta ku NRM

By Hannington Nkalubo

Added 13th August 2019

MUTABANI w’eyali omulwanyi Dr. Andrew Lutakome Kayiira eyatambulanga n’aba DP mu nkuhhaana z’ebyobufuzi nga babanja Gavumenti lipooti ekwata ku nfa ye, yeegasse ku NRM n’ategeeza agenda kubanja lipoota eno ng'abeegasseeko.

Seka 703x422

Sebastian Kayiira (ku kkono) ng'amaze okusala eddiiro.

Kyokka muganda we David Kayiira eyakwasibwa omudaali gye buvuddeko ku lwa famire y'omugenzi, ye tagenda kukikola.

Yategeezezza nti muganda we Sebastian Kayiira waddembe okusalawo okwegatta ku NRM bw'aba alabye nti, kimuyisaawo. “Kitaffe bye yakola balwanyi banne babimanyi era eddembe lye baalwanirira Uganda yalifuna.

Be yalwana nabo bwe baba balaba nti, eyo y'embeera famire yaffe gy'eteekwa okubeeramu ka tubeere bwe tuti era tetwagala bakitwale nti tubabanja", David Kayiira bwe yagambye.

Bwe yabadde alangirira, Sebastian Kayiira yaweerezza Pulezidenti Museveni ekiwandiiko nga kirimu ensonga ssatu okwabadde okusaba sikaala eri abazzukulu ba Kayiira, okuzimbirwa ennyumba n'okuyamba okuddaabiriza amalaalo ga kitaabwe.

Ku Mmande aba NRM baakoze omukolo ku kyalo Kanzize, Kayiira gye yaziikibwa nga gyakuliddwa ssentebe wa NRM mu ggombolola y’e Masuliita Ssaalongo Muwadda Namwanja.

Ku mukolo guno Sebastian Kayiira yalangiridde nti abadde wa DP naye kati ayingidde NRM kubanga nabo tebalina kye bamuyambye.

“Buli kiseera aba DP bajja wano naye n’amalaalo gayabise tewali yeevaamu kutuyambako", Sebastian bwe yagambye.

Yategeezezza nti asazeewo okwegatta ku NRM wadde nayo terina ky'ebayambye mu bbanga lya myaka 32 kitaabwe ng’afudde.

Yagambye nti bamukakasizza nti bagenda kumuyamba singa abeegattako.

Ssentebe wa NRM e Masuuliita Muwadda Namwanja yagambye nti bagenda kusisinkana Pulezidenti bamwanjulire byonna era NRM egenda kutwala obuvunaanyizibwa ku maka ga mulwanyi munnaabwe Kayiira.

Namwanja yalumbye aba DP be yagambye nti bamaze ebbanga nga babuzaabuza famire ya Kayiira kyokka kati abaana bazuukuse ne bategeera abantu abatuufu be bateekwa okukolagana nabo.

Kayiira yatemulwa nga March 6, 1987 era mu kyalo teyalekayo nnyumba ng'ebiseera ebisinga yabimalira mu lutalo lw'okununula eggwanga alyooka naye yeetereeze era mutabani.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...