TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eyise omuwandiisi w'ebyettaka mu Wakiso abitebye ku by'okujingirira ebiwandiiko

Poliisi eyise omuwandiisi w'ebyettaka mu Wakiso abitebye ku by'okujingirira ebiwandiiko

By Musasi wa Bukedde

Added 13th August 2019

Poliisi eyise Christine Katwesigye omuwandiisi w'eby'ettaka omukulu ku disitulikiti y'e Wakiso abitebye ku ngeri gye baakozesa olukujjukujju ne bajingirira ebiwandiiko ne bakyusa obwannannyini bw'ettaka lya Rufus Bisase Kisosonkole erya yiika 5 eriri ku bulooko nnamba 185 Kyadondo, mu disitulikiti y'e Wakiso.

Unity 703x422

Christine Katwesigye eyayitiddwa Poliisi. Ku ddyo kye kiwandiiko kya Poliisi ekimuyita okubitebya

Ekitongole kya Poliisi enoonyereza ku buzzi bw'emisango ekya CID ku nsonga z'ettaka (CID Land Protection) kye kiyise Katwesigye bukulire yeeyanjule e Kibuli n'ebiwandiiko ebikwata ku ttaka lino eririko emberebezi!

Akulira ekitongole kya Poliisi ekirondoola ensonga z'ettaka, SSP Charles Mutungi ategeezezza nti Katwesigye ng'ali wamu ne banne bwe bakakkalabya emirimu mu ofiisi y'ebyettaka ku disitulikiti y'e Wakiso baakwatagana n'omufere mu divizoni y'e Kira ne bakyusa amannya g'ekyapa nga tebeebuuzizza ku nnannyini lyo omutuufu, Rufas Bisase Kisosonkole ne balizza mu mannya g'omuntu omulala.

Mutungi ayongeddeko nti era bagenda kuyita be bakamisona mu Minisitule y'ebyettaka okutangaaza ku ngeri gye baakyusaamu ettaka eryassibwako kaviti n'alabula abantu ssekinnoomu okubeera okulindaala n'okulondoola ettala lyabwe si kulwa nga libabbibwako ne likyusibwa mu mu lukujjukujju!

 
alt=''
 
 

Nnannyini ttaka Bisase Kisosonkole, eyatutte ensonga ku CID e Kibuli agamba nti abafere abali emabega w'okukumubbako ettaka lye ye Hakim Sebulime ne Moses Matovu abaasooka okumuwalirizza okussa omukono ku kiwandiiko ekiraga obuyinza n'obwannannyini obuli mu mannya gaabwe kyokka n'agaana era okuva olwo babadde batiisatiisa okumutta.

Gye buvuddeko, omuwandii wa kkooti Enkulu yayisa ekiragiro ku nnamba 485/2019 ekikugira omuntu yenna obutaddamu which restricts any further dealings in the captioned land but Christine Katwesigye disobeyed the court order.

Era kinnajjukira gye buvuddeko nti abakungu mu kakiiko akalwanyisa enguzi akakulirwa Lt. Col Edith Nakalema bassa ku nninga abakungu b'ebyettaka mu Wakiso okunnyonnyola ku bufere n'emivuyo gy'ettaka mu ofiisi eyo.

Ettaka erifuuse ensonga litudde ku yiika 5 nga lisangibwa mu divizoni y'e Kira mu disitulikiti y'e Wakiso.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thumbnailkabongengomupiiraagulabiraeberuwekisaawe 220x290

Omutendesi Kabonge awanduse mu...

OMUTENDESI wa Katwe United FC mu Big League Allan Kabonge yeekandazze n’ava ku kisaawe ng’ayomba oluvannyuma lwa...

Thumbnailabazannyibacityoilersngabafaessanyulyekikopoekyomusanvu2 220x290

Aba City Oilers 2 batambulira...

ABAZANNYI ba City Oilers babiri mu liigi ya basketball eya babinywera,sizoni bagimazeeko nga batambulira ku miggo...

Genda 220x290

Abadiventi beebugira lukung'aana...

Ensi 13 ze zisuubirwa okwetaba mu lukungaana lw'aba Advent olutuumiddwa Kampala 2020 Mission Extravaganza Festival...

Sit16 220x290

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza...

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza okuddayo okusoma

Siminyu703422 220x290

Ab'ekitongole ekigaba paasipooti...

KAMISONA Brig. Johnson Amanya avunaanyizibwa ku Paasipooti n’okulondoola abasaba obutuuze, yategeezezza Bukedde...