TOP

Owa UNRA bamusse misana ttuku

By Musasi wa Bukedde

Added 14th August 2019

Owa UNRA bamusse misana ttuku

Un1 703x422

Omugenzi Turyamureeba

ABATEMU abasse omukungu w’ekitongole kya Gavumenti ekivunaanyzibwa ku byenguudo ekiyitibwa UNRA, Milton Turyamureeba, baasoose kumusiba kandooya amagulu n’emikono oluvannyuma ne bamutuga omulambo ne bagusuula mu kibira kya kalittunsi e Namagoma okumpi ne Nabbingo ku luguudo lw’e Masaka.

Turyamureeba yabadde yaakakyusibwa okuva ku ttabi lya UNRA e Masaka nga yaakasindikibwa ku ttabi ly’e Kabale. Ono, yali mumyuka w’akulira bayinginiya ba UNRA e Masaka n’akyusibwa ekifo ne bakiwa David Babora ye n’atwalibwa e Kabale gye yabadde aweereddwa obuvunaanyizibwa bwe bumu.

Allan Kyobe amyuka omwogezi wa UNRA yagambye nti, Turyamureeba baabadde naye ku kitebe ky’ekitongole kyabwe ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde mu lukiiko olw’awamu kyokka tebaategedde nti gwe mulundi gwe baasembayo okumulabako. Yagambye mu lukiiko luno, Turyamureeba, ye yabadde alondoola ebyabadde biteesebwa n’okwekubamu ttooci mu nkola yaabwe ey’emirimu.

Turyamureeba abadde mutuuze w’e Buloba ku lw’e Mityana kyokka tekinnaba kutegeerekeka wa abatemu abaamusse we baamusanze. “Twasoose kugenda mu ggwanika n’abantu abaabadde bamumanyi obulungi okukakasa nti ddala ye muntu waffe eyattiddwa. Twennyamidde nnyo kubanga abaddemukozi mulungi alina obukugu obw’amaanyi mu mirimu gy’abadde akola.” Kyobe bwe yategeezezza.

ENGERI TURYAMUREEBA GYE YATTIDDWA

Abatemu bwe baamukutte, baamusibye amagulu ne bagatugga wamu nga beeyambisa emiguwa n’emikono ne bagizinga ne bagisibira ku mugongo. Baamusibye kantuntunu ku maaso nga beeyambisa essaati olwo ne bamutuga nga bakozesa emikono gyabwe.

Mu kulwana yalumye olulimi ekyamuviiriddeko okuvaamu omusaayi. Omulambo gwe, tegwasangiddwaako kiwundu kyonna kyokka we yabadde, waasangiddwaawo ekitaba ky’omusaayi ogwavudde mu lulimi lwe yalumye.

Mu bulago bwe mwabaddemu laama z’engalo eziraga nti yatugiddwa nga bakozesa mikono. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, omulambo baagututte mu ggwanika e Mulago abakugu bagwekebejje babawe lipooti ku nfa ya Turyamureeba entuufu.

EYAZUDDE OMULAMBO ANNYONNYODDE Omulambo gwa Turyamureeba gwazuuliddwa omukuumi w’ekitongole ekikuumi ekyobwannanyini ekya SWAT, Isaac Twinomujuni eyabadde ava mu katawuni okukyajinga essimu. Twinomujuni y’omu ku baserikale abakuuma akalongooti akaliraanye we baasudde omulambo gwa Turyamureeba.

Yagambye nti, yavudde ku kifo w’akuuma ku ssaawa nnya ez’okumakya n’agenda mu katawuni k’e Namagoma okukyajinga essimu. Yagambye nti, mu katawuni yamazeeyo essaawa bbiri wabula bwe yabadde addayo, kwe kusanga omulambo gwa Turyamureeba. Ekifo we baasudde Turyamureeba kimanyiddwa nnyo ng’ekimu ku bifo abatemu we batera okusuula emirambo gy’abantu be baba basse.

Abaserikale abalala abataayagadde kwatuukirizibwa mannya baagambye nti, baalabye emmotoka eyabadde yeetawulira okumpi ne we baasudde omulambo kyokka tebaasoose kuteebereza nti abaagibaddemu bandiba abatemu.

OMULAMBO GUSANGIDDWAAKO EBIGWOGERAKO

Poliisi bwe yatuuse awaabadde omulambo, yasanzeewo densite bbiri ez’omugenzi okwabadde ey’omulimu n’ey’eggwanga kwe baasobodde okumutegeerera. Wabbali, wabaddewo ensawo (laptop bag) omwabadde ebiwandiiko by’omugenzi, empapula kwe baamukyusirizza okumuggya e Masaka okumusindika e Kabale n’ebiwandiiko ebirala ebyabaddeko nnamba z’essimu z’abamu ku b’ababadde akola nabo e Kabale.

Banne b’abadde akola nabo e Kabale baagambye nti, yabadde yajja mu maka ge okulya Iddi eyakuziddwa ku Ssande era okugwa mu batemu yabadde addayo ku mulimu e Kabale.

OMULAMBO BAAGULEETEDDE MU MMOTOKA – POLIISI

Onyango yagambye nti, ku bye baazudde, omulambo gwa Turyamureebabaaguleetedde mu mmotoka ne bagusuula mu kifo we baagusanze. Yagambye nti, omulambo gwa Tutyamureeba baagusanze mu mpale ya jjiini eya bbulu, essaati ey’omweso, omujoozi omweru gwe yabadde ayambalidde munda n’engatto eza kikuusikuusi.

Yagasseeko nti, we baasudde omulambo waliwo olubirabira erudda n’erudda wasakaatidde ekibira kya kalittunsi ekyayanguyirizza abatemu okusuula omulambo ne babulawo nga tewali abayimirizza. We baamuttidde, waliwo akatemerero ka kitundu kya mayiro okuva ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.

Engeri gye basse Turyamureeba, efaanana enzita gye battamu Wilber Mayanja eyali omusuubuzi w’ente n’embizzi mu Kampala gwe baatugira mu mmotoka omulambo ne bagusuula e Ssanga ku luguudo oludda e Ssemuto mu March w’omwaka guno.

EKYABADDE KU GGWANIKA NGA BATUUSA OMULAMBO

Abakungu ba UNRA abaabadde bakozesa Turyamureeba beeyiye ku ggwanika e Mulago okukakasa oba ddala ye muntu waabwe. Omulambo eggulo tegwakebeddwa nga balinda omukugu wa poliisi akuhhaanya ebizibiti mu kifo awaba wazziddwa omusango.

Ku ggwanika abasawo abatera okukebera emirambo bonna okuli Dr. Moses Byaruhanga akulira abasawo ba poliisi ne Dr. Sam Kalungi baabadde baliko obuvunaanyizibwa obulala bwe baabadde bakwataganya, abasawo abalala abaabaddewo ne babategeeza nti tebasobola kukola ku mulambo nga tekuli mukugu wa poliisi. Bano baabagambye okuddayo olwaleero (Lwakusatu) bakebere omulambo oluvannyuma bagubawe bakole ku by’okuziika

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye