TOP

Luggya Lwasi bamuziise mu kitiibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 14th August 2019

Luggya Lwasi bamuziise mu kitiibwa

Lug2 703x422

Bannaddiini n’abakungubazi abeetabye mu kuziika Luggya Lwasi.

Omugenzi Ezekiel Luggya Lwasi Bapere aziikiddwa mu kitiibwa e Nakaseeta, Mpigi ng’abalabirizi na bakungubazi batendereza omukululo gw’alese mu ggwanga ku myaka 75. Luggya Lwasi yafiira mu ddwaaliro e Mengo oluvannyuma lw’okulumizibwa mu lubuto.

Abakungu okuva mu Gavumenti eyaawakati nabo beetabye mu kuziika Gen. Katumba Wamala ye yakiikiridde Pulezidenti, Meeya w’e Lubaga Nabbosa Ssebugwawo, Katikkiro w’ekika ky’e Ndiga Edward Ssemukuutu n’omubaka wa Katikamu North Ying. Abraham Byandaala.

Abalabirizi abaasiimye omugenzi olw’emirimu gy’akoledde ekkanisa kwabaddeko Eria Paul Luzinda owe Mukono eyawummula, George William Ssenabulya owa Central Buganda eyawummula, Eridaadi Nsubuga owe Luweero ne Evans Mukasa Kisekka naye eyawummula.

Pulezidenti Museveni mu bubaka bwe yayisizza mu Gen. Katumba Wamala yasiimye emirimu omugenzi gy’akoledde ekkanisa okusingira ddala ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo.

Gen. Katumba Wamala yategeezza nti Pulezidenti yasiimye obwesigwa omugenzi bw’abadde alina ng’abadde akwata bulungi ssente z’okuzimba Namugongo era n’asuubiza okwongera okuwaayo ssente ku mirimu gy’Ekkanisa Yayanjudde obukadde 10, Pulezidenti bwe yawaddeyo ng’amabugo.

Ssaabalabirizi wa Uganda, Stanely Ntangali yasinzidde Nigeria n’aweereza obubaka bwe yayisizza mu Jackson Matovu n’asiima emirimu omugenzi gy’akoledde eggwanga ne kkanisa n’asaba abantu okumutwala ng’ekyokulabirako.

Omulabirizi Eridard Nsubuga eyakulembedde okubuulira yagambye nti omugenzi abadde mweruufu, mwesigwa, omuteefu ate era omuwi w’amagezi n’amwebaza okuzimba ekkanisa e Mpigi. Omulabirizi George William Ssenabulya Omulabirizi wa Central Buganda eyawummula yasiimye emirimu Omugenzi gyakoledde ekkanisa nategeeza nti abadde akola ng’atawummula emisana n’ekiro okutuusa okufa.

Yeebazizza Ruth Nkoyooyo nnamwandu w’omugenzi Dr. Livingstone Nkoyooyo eyamugatta ku mugenzi era nga babadde bakolagana okuviira ddala nga batandika okuzimba Church House.Yakuutidde abantu obutakozesa mikono gyabwe kutta bannaabwe.

Omulabirizi Evans Mukasa Kisseka yagambye nti bafiiriddwa omuntu abadde amanyi obunafu bwabwe ng’akoleredde Obulabirizi bw’e Luweero. Omulabirizi Jackson Matovu, ssentebe ku kakiiko akazimba Namugongo yategeezezza nti omugenzi abadde mugezi ng’abadde amanyi bwino yenna akwata ku Namugongo. Rev. William Mirimu Omusumba w’ekkanisa y’e Mpigi - Nakaseeta yalaze obweraliikirivu n’agamba nti omugenzi yabadde azimba ekkanisa yaabwe n’asaba abantu okubakwattizaako basobole okugimaliriza.

Isreal Mayengo omukulembeze mu kibiina kya ‘Prostate Gland Intiative Uganda’ ekiyamba okubunyisa amawulire agakwata ku kansa wa basajja n’okunoonya obuyambi eri abalina obulwadde buno ekyatandikibwawo omugenzi yategeezezza nti omugenzi abadde alumirirwa buli muntu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.