TOP

Ettemu ku ba bodaboda ligulumbizza Palamenti

By Kizito Musoke

Added 14th August 2019

Ettemu ku ba bodaboda ligulumbizza Palamenti

Kad1 703x422

ABABAKA ba Palamenti bakubaganyizza ebirowoozo ku kiteekeddwa okukolebwa okumalawo ettemu erisusse mu bavuzi ba bodaboda. Baabadde mu lutuula olwakubiriziddwa sipiika Rebecca Kadaga, eggulo. David Abala (Ngora) ye yayanjudde ekiteeso mu Palamenti n’asaba Gavumenti okukolawo ekyenjawulo okulaba ng’ettemu ku bavuzi ba bodaboda likomekkerezebwa.

Ekiteeso kyawagiddwa Allan Sewanyana (Makindye West) ne Thomas Tayebwa (Ruhinda North). Abalala baasabye wabeewo ekikolebwa ku batunda sipeeya omukadde kubanga okunoonyereza okukoleddwa kizuuliddwa nti beetaba butereevu mu kutta abavuzi ba bodaboda n’ekigendererwa ky’okufuna sipeeya.

Kyokka Ssewanyana yayawukanyeemu nabo n’agamba nti abantu abatono tebasaanye kulowoozesa nti bonna abatunda sipeeya babbi oba batemu. Yawadde eky’okulabirako nti waliwo abantu abakaddiyidde mu mulimu gw’okutunda sipeeya ng’ate ekizibu eky’ogerwako kyakamala emyaka ebiri gyokka.

Waira Majegere (Bunya) yagambye nti Gavumenti bw’eba eremereddwa bamukkirize aleete etteeka erinaasobola okuluhhaamya omulimu gwa bodaboda mu ggwanga. Yasabye wateekebwewo ne SACCO esobola okuyamba abavuzi ba bodaboda nga beewola n’okuterekayo. Wadde nga bangi ssente bazifuna kyokka tebasobodde kwekulaakulanya. Joseph Sewungu (Kalungu West) yasabye Gavumenti amaanyi g’eteeka mu kugumbulula enkuhhana za bannabyabufuzi b’oludda oluvuganya g’ebeera essa ku batemu

. Yagambye nti omuntu bw’ategeeza poliisi nti bamubbye esooka kumusaba za mafuta ate nga mu kukwata bannabyabufuzi banguwa nnyo. Ibrahim Ssemujju Nganda (Kira Munisipaali) yawabudde Gavumenti eddemu yeetegereze amagezi Pulezidenti Museveni ge yaleeta okumalawo ettemu ng’okwambala ebikoofiiraebiriko nnamba n’okuteeka kkamera ku nguudo kuba birabika tebinnaba kukola.

Geoffrey Macho (Busia Munisipaali) yasabye Gavumenti etwala eky’okulabirako kya Kenya gye yagambye nti abavuzi ba bodaboda bonna baawandiikibwa ne babakolera ne SACCO. Buli muvuzi amanyiddwa ne pikipiki gy’avuga. Ababaka bonna abaateesezza baalaze nti kyetaagisa Gavumenti okuteekawo etteeka ku bodaboda kubanga buli omu ayingira mu mulimu guno nga tasoose kwekenneenyezebwa wadde okutendekebwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...