TOP

Mukole ebibiina by’obwegassi’

By Musasi wa Bukedde

Added 14th August 2019

‘Mukole ebibiina by’obwegassi’

Lip2 703x422

OMUBAKA akiikirira Munisipaali y’e Nansana mu Palamenti Hon. Kasule Ssebunnya, awabudde abakozi nti okwekolamu ebibiina by’obwegassi kye kijja okutambuza bizinensi zaabwe.

Bino yabyogeredde ku mukolo nga abayizi bakwasibwa ebbaluwa ezibakakasa okumaliriza omusomo ogw’emyezi esatu ogwababangudde mu nzirukanya y’emirimu, kwe yabadde omugenyi omukulu nga ye yakiikiridde Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga.

Abakozi abawerera ddala 548 be baasindikibwa kampuni ez’enjawulo eziwera 148 mu musomo guno. Omukolo gwabadde ku ttendekero lya Stanbic Business Incubator e Kololo ku nkomerero ya wiiki ewedde.

Yabakuutidde bulijjo okukolera awamu nga tebeerabidde nti agali awamu ge galuma ennyama. Guno mulundi gwakusatu ng’omusomo guno gutegekebwa.Ssebunnya yeebazizza abategesi b’omusomo guno aba Stanbic Bank olw’okulengerera ewala ne bategekera abaana omusomo ogubafuula ab’enjawulo Yagambye nti eno y’engeri yokka esobola okuzza abakozi obuggya ne babanguka mu nzirukanya ya bizineesi zaabwe.

Bwe yabadde ayogera eri abayizi abaakwasiddwa ebbaluwa akulira ebyokwekulaakulanya mu bbanka eno Tony Otoa, yagambye nti abayizi abaatikkiddwa bakyuse kinene mu nzirukanya y’emirimu olw’obukugu bwe bafunye. Mu bye baabanguddwa mulimu enkola y’endagaano mu bizinensi, enkwata ya bakasitooma, okutangira n’okwanguyira ebisuula bizinensi, enkuuma y’ebitabo n’ebintu ebirala ebikuuma bizineesi okutambula obulungi nga tezigudde.

Ku mukolo gwe gumu, Stanbic Bank yafunye okuvujjirirwa kwa ssente eziwerera ddala obukadde 400 okuva mu kitongole kya GIZ Employment and Skills for Eastern Africa programme. Patrick Mweheire, akulira bbanka eno yagambye nti zaakubasobozesa okusenvula n’okusembeza empeereza eno mu bitundu by’eggwanga ebirala gye bateeka teeka okussa amatabi aganaabangula abantu mu bitundu ebyo.

Ye Ernest Rubondo akulira ekitongole kya Petroleum Authority of Uganda yasiimye enkola eno era n’akakasa nga bw’egenda okubangula abakozi era ekendeeze eky’okuleetanga abagwira okuggussa emirimu egitali gimu buli lwe wabeerawo obwetaavu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Patu 220x290

'Twagala Mityana eyegombesa'

Patrick Mugisha ng'ono y'avuganyaako ku kifo ky’obubaka bwa Palamenti okukiikirira Mityana North aludde ddaaki...

Pro 220x290

Ddala kiki ekyasse omugagga wa...

OBULWADDE obwasse omutandisi w’essomero lya Kabojja Junior School, bwasooka kucankalanya lubuto, aba famire ne...

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...