TOP

Omusomesa abadde asobya ku bayizi akwatiddwa

By Moses Lemisa

Added 14th August 2019

ABA LC bakutte omusomesa gwe balumiriza okusobya ku bayizi b’asomesa n’abawandiikira olukalala lw’abayizi be yakasobyako, nnannyini ssomero ensonga yazitegeerako n’atafaayo kumuyimiriza.

Kuba 703x422

Lukwago gwe balumiriza okusobya ku bayizi.

Lukwago (24) asomesa essomo lya Science ne Math mu P7 ku ssomero lya The Sower Junior School erisangibwa mu Lusanja mu muluka gw’omu kiteezi mu Kasangati Tawuni kkanso mu Disitulikiti y’e Wakiso, yakwatiddwa abakulembeze ba LC y’omu Lubatu oluvannyuma lw’okumufunako amawulire nga bw’aludde ng’asobya ku bayizi abawala. Lukwago, mutuuze mu Lubatu - Kizingiza mw’apangisa.

Okumukwata kyaddiridde abatuuze okumwemulugunyaako nga bw’atwala abayizi mu muzigo gwe n’abasobyako, ku luno baamulinze n’amala okuyingiza omuyizi wa P5, ne bamukwata ne bayita aba LC, n’abasaba ekisonyiwo n’awandiika n’olukalala lw’abayizi b’azze akuluusanya.

LC yakulembeddwaamu omumyuka wa Ssentebe, Betty Nabbosa 47 ne Lawrence Sserunjogi akulira abavubuka mu muluka gw’omu Kiteezi, baatandise okunoonya abayizi nga bagoberera olukalala lwa Lukwago ne bafunako abayizi bataano.

Lukwago baamukwasizza poliisi y’omu Kiteezi n’emuggulako omusango ku fayiro nnamba SD:24/08/08/2019 Haidah Nsereko nannyini mayumba okusula Lukwago yategeezezza nti waliwo omupangisa eyamugambako nga Lukwako bw’aleeta abayizi ne beesibira munju naye n’atakikakasa.

Lukwago yategeezezza aba LC nti kituufu abayizi abadde abasobyako ate bwe yatuuse ku poliisi n’abyegaana.

ABAKULEMBEZE BOOGEDDE

Lawrence Sserunjogi ssentebe w’abavubuka mu muluka gw’omu Kiteezi eyagguddewo omusango yagambye nti ssinga Lukwago yakwatibwa dda naye bapangisa banne babaddenga bamubikkirira.

ABAYIZI BOOGEDDE

Abayizi amannya agasirikiddwa, be baalaze LC omuzigo gwe. Baategeezezza nti Lukwago bw’akutwala ewuwe n’ogaana okukola ky’ayagala bw’odda ku ssomero ng’akulangira nga bazadde bo bwe bali abanaku ssaako n’okukuba kibooko.

NNANYINI SSOMERO AYOGEDDE

Ali Mpungu: Ensonga z’omusomesa oyo okukabasanya abayizi nnaziwulirako omwaka oguwedde, nnamuyita ne njogera naye mu buntu.

Eby’okukaka abayizi omukwano abadde akikola ng’omuntu si ng’essomero ng’era abadde abikolera mu muzigo gwe ng’ate abikola kawungeezi ng’abaana tubatadde ne mu luwummula kyokka nnagezaako okwogera n’abayizi ne babyegaana.

Ye mupangisa munne, Agnes Nansamba 38, yategeezezza nti ensonga eno yali yagibuulirako nnanyini mayumba.

Yagasseeko nti abamu abadde abaleeta n’aggalawo oluggi ne bamalamu eddaaki nga 40.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...