TOP

Museveni alabudde abayizi ku kwegadanga

By Musasi wa Bukedde

Added 14th August 2019

PULEZIDENTI Yoweri Museveni alabudde abayizi okwesonyiwa eby'okwegadanga, kibasobozese okutuukiriza ebirooto byabwe.

Yamba 703x422

Museveni n'abamu ku bayizi abagenda okwetaba mu mizannyo gya siniya e Tanzania.

BYA JOHNSON WERE

Yabadde mu maka g'Obwapulezidenti e Ntebe eggulo ng'asiibula abayizi 800 abagenda okwetaba mu mizannyo egy'enjawulo egya siniya z'omu buvanjuba bwa Afrika egigenda okukwajjira mu kibuga Arusha mu Tanzania.

"Bwe muba mwagala okugenda ewala n'ebirooto byammwe ssaako okukulaakulanya ttalanta ez'enjawulo, mulina okwesonyiwa eby'okwegadanga okutuusa nga mukuze," Museveni, bwe yabakalaatidde.

Yabakubirizza okunyiikirira okutendekebwa n'okukola dduyiro ng'agamba nti ebyo bye bisinga okuyamba bannabyamizannyo okuwangula.

Ye minisita w'Ebyenjigiriza, Janet Museveni, yeebazizza abantu ab'enjawulo abakoze omulimu gw'okutendeka abayizi bano n'abaagaliza obuwanguzi mu buli kika kya mizannyo kye bagenda okwetabamu.

Yabasabye bulijjo obuteerabiranga Katonda mu buli kye bakola. Patrick Okanya, ssentebe w'ekibiina ekigatta amasomero ga siniya mu Uganda (USSSA)ye yakulembeddemu abayizi bano abagenda okukiikirira eggwanga mu mizannyo gya siniya egy'Obuvanjuba.

Abalala abaabaddewo kuliko, minissita w'Emizannyo, Charles Bakkabulindi, Dr. Bernard Patrick Ogwel, ssaabawandiisi w'akakiiko akavunaanyizibwa ku mizannyo aka National Council of Sports (NCS), David Katende, omumyuka we, Owen Kibenge, amyuka omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'Ebyenjigiriza n'Emizannyo, Justus Mugisha, amyuka ssentebe wa USSSA era nga ye nnannyini Standard High School, n'abalala.

Amasomero agagenze kuliko; Kitende, Buddo SS, Jinja SS, Ntare School, St. Mary's College Kisubi, Bweranyangi Girls, Kakungulu Memorial, Mount St. Mary's Namagunga, Kibuli n'amalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...