TOP

Abandaba tebamanya bwe nzigya ssanyu mu bicaafu

By Musasi wa Bukedde

Added 14th August 2019

Abandaba tebamanya bwe nzigya ssanyu mu bicaafu

Hot1 703x422

Ssekatawa (ku ddaala) ng’apanga ttanuulu ya kajjansi n’abakozi be.

EMIRIMU egirimu eby’okweddugaza tegyettanirwa bantu ensangi zino ng’abasinga bagamba tebaagala kuswala so nga omuntu bw’aba agikutte bulungi girimu ssente. Lawrence Ssekatawa 52, omutuuze w’e Bweya - Kajjansi agamba nti, eno endowooza gye yasooka okweggyamu oluvannyuma lw’okukimanya nti kyali kya kumubeerera kizibu okufuna omulimu kuba yali teyatuuka wadde mu siniya eyookuna.

Annyonnyola nti: Nakolako mu kkampuni ya Uganda Clays okumala emyezi esatu era ng’eno gye nayigira okukola obugyo (Max pans) kyokka nalaba nga ssente ze bansasula buli wiiki ntono okusinziira ku byetaago bye nalina ne kimpaliriza okuvaayo ngezeeko okuyiiya ebirala.

NFUNA EKIROWOOZO Nga nnaakava mu kkampuni eyo ebintu tebyali byangu, wabula obwongo bwali tebutudde era nga waakayita akabanga katono mu 1989 nakwatagana ne mukwano gwange Fred Sseruwagi eyali akola emigongo ng’agyetwalira okugisuubuza e Jinja.

Namwegattako ne tutandika okukola emigongo n’obumooli ffembi nga tukozesa butimba bwa miti ekyatuwanga obuzibu ate ng’oluusi buno bumanyi okumenya emigongo gye twakolanga kuba gyetaaga okukwata obulungi nga gikyali mibisi.

Oluvannyuma lw’okufuna obumanyirivu nayagala okwerandiza era mu 1994 nasisinkana omwami gwe bayita Ogwang eyankolera ekyuma kyange kye nasooka okukozesa okufulumya obumooli ne ‘Half bricks’. Ekyuma ekyo kyakozesanga ngalo na bigere nga guno omulimu guba munene ate nga gukooya ssinga omuntu aba wa kufulumya ebintu ebiwera ate nga nali bw’omu ebiseera ebyo nga kino kye kyampaliriza okugula yingini mu 2001 bwe nafuna ssente.

Obuzibu obulala bwe kyalina bwali nti, kyakolanga bwe kifa nga kino kyalwisangawo emirimu so nga bakasitoma baabeeranga baagala ebintu byabwe mu budde nga kino kyampaliriza okulowooza ku ky’okufuna ekyuma ekirala ekiyinza okukozesa yingini.

Ebintu tebyali byangu nga bwe nali ndowoozezza olw’okuba kyali kya bbeeyi ne nsalawo mu 2002 okusooka okugula yingini gye nateeka ku kikadde era nga gye nkyakozesa, wabula ne Ogwang nga bwampangira ekyuma ekipya nakyo kye nkozesa

    EBIKOZESEBWA     

Omuntu anaakola ‘Max pans’ teyeetaaga bintu bingi eby’enjawulo wabula ebyo ebyetaagisa birina kuba mu bungi bwabyo okusobola okuzikola, mu bino mulimu: 1 Ebbumba 2 Amazzi 3 Amafuta agagenda mu yingini 4 Enku ez’okwokya ‘Max pans’ 5 Amatoffaali agabikka ‘Max pans’ mu kwokya kuba sinnazimba ttanuulu omw’okuzokera.

ENGERI GYE NKOLAMU Olw’okuba ebbumba wano lyaggwaawo tusooka ne tulireeta era nga bw’oba waakuzikola weetaaga eriddugavu n’erya kikuusikuusi. Nnina abavubuka babairi abalitabula nga bataddemu amazzi.

Ng’okutabula kuwedde, ebbumba olireka okumala wakati w’ennaku 3 ne 4 lisobole okuggwaamu ebbugumu n’empulunguse eziyinza okulemesa ekyuma okukyusa obulungi ettaka.

Tuliteeka mu kyuma ku lunaku olw’okutaano nga kino kyongera okuligoya okutuusa lwe ligonda era nga teriyinza kuyita we ligoyezebwa nga lirimu empulunguse. Tulina obutiba obw’enjawulo bwe tuteeka ku kyuma ekyo okusinziira mu kipimo kya ‘Max pans’ ze tuba twetaaga era zifuluma okusinziira ku katibwa ke tuba tutaddeko.

Kasita ziva mu kyuma sikkiriza muntu yenna kuzikwatako okutuusa nga zikaze kubanga bazimenya ate ne banfiiriza. Nze nziggya mu kyuma nga bwe nziteeka mu kisiikirize okumala wiiki nnya zisobole okukala. Abavubuka wano bannyambako nga zikaze okuzipanga mu ttanuulu ate ku mabbali gaazo ne tuteekako amatoffaali zisobole okuggya. ‘Max pans’ zijjiira mu kiro kimu era ekiba kirindiridde kwe kuzitunda.

AKATALE ‘Max Pans’ zirina akatale kanene wadde nga kkampuni ez’amaanyi zitunda kyokka ate olumu abantu abalala bagula ku ffe abatono ate nga bazitwala mu bungi. Olw’okuba zeetaagibwa abazimba kalina ate ng’abantu ennaku zino bazettanidde, kitegeeza kizibu okuba nga zikudibirira.

Kyenkana buli ttanuulu gye njokya ebeera eriko eyagyekutte ate nga ne babbulooka mu Kajjansi mwebali bangi abatuleetera abaguzi nga n’oluusi bo bazigula ate ne bazetundira. ‘Max pan’ entono ngitunda 1,400/- ate ennene eri ku 1,800/- buli emu. BYE NFUNYE 1 Nzimbye ennyumba e Bweya - Kajjansi era eno yamponya obupangisa kati ssente ziba za kukola bintu birala si kugenda mu balandiroodi.

2 Nagulayo emmotoka ekika kya ‘Noah’ era bw’onsanga mu kkubo toyinza kulowooza nti emirimu egyange gya kweddugaza.

3 Nsasulira abaana bange ebyetaago ku masomero gyebali ate nga amasomero mwebali siga layiisi.

4 Ndabirira amaka gange era nina okulowooza nti tebajjula wadde nga teri kimala naye wakiri tulya ekyemisana n’ekyeggulo.

EBISOOMOOZA

1 Enku ziseerebwa kubanga ssinga tuba baakwokya ‘Max pans’ 3,000 kitwetaagisa okugula enku za 1,500,000/-.

2 Ebbumba terikyalabika kubanga ne we tukolera lyaggwaawo kati kinneetaagisa kuligula ku bantu balala abaliseera.

3 Amafuta agagenda mu yingini y’ekyuma ekizikuba nago galinnya nga kikwetaagisa okussaamu ssente nnyingi.

EBINNYAMBYE OKUwangaalira mu mulimu l Nsobola okwewaako obujulizi ng’omu ku bantu abaludde mu mulimu guno wadde nga gulina ebisoomooza bingi naye nafuna engeri gye mbikwatamu.

Okulemerako ne bwe nfuna okusoomoozebwa okw’amaanyi ekintuusizza ku birungi bye nnina.

Nfubye okuteekawo enkolagana ey’enjawulo ne bakasitoma nga bano ne bwe bamaliriza okuzimba ennyumba zaabwe bannyambako okungatta ku bantu abalala abazeetaaga ekinnyamba okubeera n’akatale buli kiseera.

 Enkolagana n’abantu abandi okumpi, okugeza amatoffaali ge nkozesa okubikka ttanulu ya ‘Max Pans’ ngagula ku baliraanwa nti ne bwe sibeerawo kizibu ebintu byange okubbibwa kuba bankuumirako olw’enkolagana gye nateekawo nabo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye